Amyuka omwogezi w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Alex Waiswa Mufumbiro ssaako ne Sauda Madaada eyasunsuddwa, okuvuganya ku bwa Kansala omukyala mu Kampala Central baguddwaako emisango, gy’okwekobaana okuzza omusango ne bakola Paleedi mu ngeri emenya amateeka, nga 12, February, 2025, webaali bajjaguza amazaalibwa ga Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ag’emyaka 42.

Emisana ga leero, basimbiddwa mu kkooti esookerwako e Kanyanya wakati mu byokwerinda.

Mufumbiro myaka 39, mutuuze we Mutungo e Nakawa ate Madaada amanyikiddwa nga AIGP Madaada myaka 34, mutuuze we Bulenga-Biira e Wakiso.

Bonna 2 bagatiddwa ku fayiro okuli bannakibiina 7 abali ku limanda mu kkomera e Luzira okuli

Edward Ssebuufu amanyikiddwa nga Eddie Mutwe

Achileo Kivumbi

Tasi Calvin amanyikiddwa nga Bobi Giant

Sserunkuma Edwin amanyikidda nga  Eddie King Kabenja

Lukenge Sharif

Nyanzi Yassin

Kaweesi Tonny

Wabula bonna mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako, Agumasiimwe Damalie begaanye emisango gyonna.

Mufumbiro yakwatiddwa ku Mmande bwe yabadde agenze ku kkooti y’emu e Kanyanya ate Madaada, yakwatiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo e Busia bwe yabadde agenda mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi.

Wabula wadde baleese abantu okweyimirirwa, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Sharon Nambuya, ategezezza nti betaaga ebbanga eriwerako okwekeneenya ebiwandiiko by’abantu abaleteddwa.

Ezimu ku nsonga lwaki babadde balemeddeko okutaasa abantu baabwe

– Mukyala wa Mufumbiro alina obulwadde bwa Kansa ate nga bba yekka yamulabirira nga n’olunnaku olw’enkya, balina okumuzaayo mu ddwaaliro, okumukalirira.

Wadde baleese ensonga ez’enjawulo, omulamuzi bonna abasindise ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 29, September, 2025, okuwa akadde oludda oluwaabi okwekeneenya buli kiwandiiko era ku lunnaku olwo, ne banaabwe abasindikiddwa ku limanda ku mande 7 lwe bagenda okudda mu kkooti y’emu.

Wabula bannamateeka baabwe, bagamba nti byonna ebikolebwa, bityoboola eddembe ly’obuntu – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s&t=1s