Balaam atandikidde mu ggiya

Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni asuubiza okwekeneenya bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) abali mu makkomera ag’enjawulo okulondamu abagwanidde okuyimbulwa.

Museveni agamba nti bonna bali makkomera ku misango omuli obutemu, balina okukangavulwa wabula ate abo, abali ku misango omuli okwokya ebipiira mu nguudo, bayinza okusonyiyibwa.

Pulezidenti Museveni okubyogera, kidiridde Minisita omubeezi ku nsonga z’abavubuka n’abaana Dr. Balaam Barugahara, okutwala Kansala munnakibiina ki NUP okuva e Masaka, Ali Kateregga, bwe yabadde agenze okulayira mu State House Ntebe, okusaba Pulezidenti Museveni okuyimbula abakwate nga bangi ku bbo, bazza emisango olw’obutamanya.

Katerega era yasuubiza omukulembeze w’eggwanga, nti NUP agisudde mu kasero, Balaam asobodde okumuyamba okuddamu okulaba omusana.

Balaam, Pulezidenti Museveni ne Kateregga mu State House

Ku mikolo gy’okulayira, Balaam yabadde aweerekeddwako abayimbi omuli Bebe Cool, Juliana Kanyomozi n’abalala.

Wabula Alex Waiswa Mufumbiro, amyuka omwogezi wa NUP, agamba nti bw’ekiba nga Katongole yasobodde okutuuka mu State House ng’alina akakofiira ka NUP ku mutwe, kabonero akalaga nti akakofiira ka NUP tekalina musango era abantu bonna abali makkomera ku misango gy’okwambala obukofiira balina okuteebwa.

Mufumbiro era agamba nti, bwe kiba nga baludde ebbanga nga balaga nti abantu baabwe balina emisango, baleete obujjulizi okusinga okudda mu kwekwasa mu kiseera nga tusemberedde okugenda mu kalulu ka 2026.

Alabudde nti ekibiina kya nsonga wabula si muntu nga Katongole.

Wabula Minisita Balaam okutandika okutwala abantu ba NUP mu State House, kabonero akalaga nti atandikidde mu ggiiya okutema Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ebiwawatiro okutandika okutwala abawagizi be eri Pulezidenti Museveni, okusobola okudda mu NRM.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eA7YXUBdizY