Poliisi eyingidde mu nsonga okunoonyereza olwa vidiyo 2 ezongedde okutambula ku mikutu migatta abantu, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga ziraga abasirikale nga bayuza ebipande bya Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Okusinzira ku Kyagulanyi ku mukutu ogwa X, vidiyo emu, yabadde Mbale ate endala Nateete, zonna olunnaku lw’eggulo ku Lwokusatu.

Ku X, asigadde yebuuza, ekyasindikiriza abasirikale okuyuza ebipande bye.

Wabula Poliisi, efulumizza ekiwandiiko ekikwata ku vidiyo ezo.

Okusinzira ku kiwandiiko, Poliisi etandiise okunoonyereza ku basirikale baabwe era singa kizuulwa nti balina emisango, bagenda kangavulwa.

Bino webigidde nga Poliisi ya Kampala Mukadde, yakamala okukwata Nsubuga Isaac myaka 30 omutuuze we Lubya, olw’okuyuza ebipande bya Pulezidenti Museveni muluka gwe Lubya mu Lubaga.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, yategezezza nti Nsubuga ayinza okusibwa omwaka mulamba oba okuwa engasi.

Ate mu nnaku 2, ez’okusunsula abegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, ebitongole byokwerinda byakutte abantu 79 nga bakulembeddwamu Poliisi

Ku Lwokubiri, yakutte 44 nga bagezaako okubba amassimu n’okusala ensawo mu lukungaana lwa Pulezidenti Museveni e Kololo, bali ku Jinja Road.

Ate olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, abantu 35 baakwatiddwa mu bitundu bye Kajjansi nga bagezaako okugyemera ebiragiro bya Poliisi.

Allan Sewanyana, omubaka wa Makindye West y’omu ku baakwatiddwa kyokka oluvanyuma yayimbuddwa kakalu ka Poliisi.

Ate abamu ku bawagizi ba Kyagulanyi n’abo bakwatiddwa olw’okuvugiza ekimama n’okukuba abantu era Poliisi yakutte emmotoka 2 ne Pikipiki 40