Sseggona n’abalala bakaaba….
Abamu ku bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bakyasobeddwa oluvanyuma lw’ekibiina, okufulumya ‘list’ y’abo, abagenda okulemberamu ekibiina ku bukaka bwa Palamenti nga tebafunye mukisa.
Abamu kw’abo, abaweereddwa kaadi kuliko
– Omuyimbi Sir. Mathias Walukagga – Busiro East – okudda mu bigere bya Medard Lubega Sseggona.
– Sipiika w’olukiiko lwa KCCA, Zahra Luyirika – Makindye West – Okudda mu bigere bya Allan Ssewanyana
– Shamim Malende – asigadde mu Kampala ng’omubaka omukyala.
– Fred Nyanzi Ssentamu – Kawempe South – Okudda mu bigere bya Kazibwe Bashir Mbaziira gwe bagamba nti abadde yava dda mu kibiina.
– Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP, David Lewis Rubongoya – Kampala Central
– Omusibe Alex Waiswa Mufumbiro – Nakawa East – okudda mu bigere bya Ronald Balimwezo, eyagenze ku bwa Loodi meeya bwa Kampala.
– Ali Kasirye Nganda Mulyannyama – Makindye East – okudda mu bigere bya Derrick Nyeko
– Kuteesa Patrick – Kimaanya Kabonera – okudda mu bigere bya Abed Bwanika owa Democratic Front.
– Omumbejja Eugenia Nassolo – Lubaga South – okudda mu bigere bya Aloysius Mukasa
– Yusuf Kiruluuta Nkerettanyi – Kalungu East – okudda mu bigere bya Katabaazi Francis Katongole
– Lubowa Gyaviira Ssebina – Nyendo Mukungwe.
Ssebina asobodde okuwangula munnamateeka Sam Muyizzi ne Nanungi Alice.
– Zambaali Blasio – Munisipaali ye Nansana – Okudda mu bigere bya Musoke Wakayima Nsereko.
Zambaali asobodde okumegga Mayanja Abraham amanyiddwa nga Big Eye
– Mukisa Proscovia – Y’omubaka omukyala e Mityana – okudda mu bigere bya Joyce Bagala Ntwatwa, abadde mu kifo ekyo, emyaka 5 gyokka.
Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu bwe yabadde akwasibwa ‘List’ y’abawanguzi, aliko entanda gye yasibiridde abawanguzi ssaako n’abo abawanguddwa.
Agamba nti balina kulwana okutwala buyinza bwa ggwanga si kulwanira bwa Mps – https://www.youtube.com/watch?v=_XE3j-6N7yU&t=21s