Olunnaku olw’eggulo, Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yabadde Kassanda ne Mubende.
Abantu bazze mu bungi, okulaga nti 2026, Bobi Wine alina okukwata entebe y’obukulembeze bw’eggwanga.
Mu bitundu bye Kassanda, buli kimu kyatambudde bulungi wabula Bobi Wine bwe yabadde agenda e Mubende, yafunye okusoomozebwa bwe yasanze Poliisi ng’etadde ebimotoka mu kkubo.
Wakati mu kusika omuguwa, Bobi Wine yasobodde okweyambisa Pikipiki, okugenda okukuba olukungaana.

Byonna ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU&t=492s