Bannansi mu ggwanga erya Kenya, bakyakungubaga olw’okufa kwa Raila Odinga, eyaliko Ssaabaminisita w’eggwanga.

Odinga afiiridde ku myaka 80 mu ggwanga erya India nga kigambibwa, abadde akedde kutambulamu ng’ali ne famire ye ssaako n’abasawo, kyokka agudde wansi omulundi gumu ng’omutima gwesibye.

Yazaalibwa mu bitundu bye Maseno mu disitulikiti y’e Kisumu e Nyanza nga 7, January 1945.

Bamuyodde, okumuddusa mu ddwaaliro kyokka kigambibwa afiiridde mu kkubo.

Odinga yali Ssaabaminisita w’e Kenya okuva 2008 – 2013

– Omubaka wa Palamenti owa  Langata okuva 1992 – 2013

– Yabadde omukulembeze w’oludda oluvuganya okuva 2013 – okutuusa okufa

– Avuganyiza ku bukulembeze bw’eggwanga erya Kenya emirundi 5

– Yavuganya mu 1997, 2007, 2013, 2017 ne 2022

– Mu 2022, yawangulwa William Ruto ku bwa Pulezidenti.

– Mu 2024, yavuganya ku bwa ssentebe bwa  African Union Commission wabula yawangulwa Mahamoud Ali Youssouf okuva mu ggwanga lya Djibout mu kulonda kwa February 2025.

Odinga, kitaawe Jaramogi Oginga Odinga yaliko omumyuka wa Pulezidenti  Jomo Kenyatta.

Gavumenti erangiridde ennaku 7 ez’okukungubaga era Gavumenti esuubizza okukola ku ntekateeka zonna ez’okuzza omulambo n’okuziika.

Mu nnaku 7, bendera ziragiddwa okwewuubira mu Makati g’emirongoti mu Kenya ne ku bitebe bya Kenya byonna era Pulezidenti Ruto, ayimiriza entekateeka ze zonna.

Oluvanyuma lw’okufa, enguudo zikutte jaamu nga abatuuze b’e Bondo, bagenda mu makaage – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=69s