Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Emmanuel Baguma agobye okusaba kwa Dr Kizza Besigye ne Hajji Obeid Lutale egy’okutwala emisango gyabwe mu kkooti enkulu ewozesa emisango gya bakalintalo eya International Crimes Division.

Omulamuzi Baguma, agamba nti kkooti enkulu, Besigye mwali ne munne, erina obuyinza bwonna, okuwuliriza emisango gyabwe, egy’okulya mu nsi olukwe.

Omulamuzi Baguma era awakanyiza ebigambo byabwe nti kizibu okumuwa obwenkanya singa anaasigala mu misango gye.

Agamba nti eky’okugaana okuwa Besigye okweyimirira ne banne, tekitegeeza nti omulamuzi tamanyi kyakola era si kabonero akalaga nti omulamuzi ali kyekubira.

Mungeri y’emu agamba nti emisango egiri mu kakiiko akatwala abalamuzi, ng’asaba Baguma okumuggya mu offiisi y’obulamuzi, ye nga Baguma tekimugaana, kugenda mu maaso n’omusango.

Wabula Besigye alagidde bannamateeka be okuli Ernest Kalibbala okuddukira mu bwangu mu kkooti ya sseemateeka, nga bawakanya ekya Baguma okusigala mu misango gye, nga waliwo emisango egiri mu kakiiko k’abalamuzi.

Mungeri y’emu ayagala kkooti ya sseemateeka, okuwa ensala oba ddala ayinza okufuna obwenkanya mu maaso g’omulamuzi Baguma olw’engeri gyakuttemu omusango gwe.

Wadde asabye omulamuzi Baguma okusindika ensonga ze mu kkooti ya sseemateeka, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, luwakanyiza okusaba kwa Besigye ne banne.

Omulamuzi Baguma, asuubiza okuwa ensala nga 6, November, 2025, oba akkiriza okusindika ensonga ze mu kkooti ya ssemateeka – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=69s