Poliisi e Jinja esobeddwa olw’omwana okutta mwana munne, wakati mu kulwana nga bali ku ssomero, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Omwana Collin Byaguba myaka 15, ng’abadde mu kibiina kyakutaano (P5) era ng’abadde mutabani wa Waiswa Mutagaya, omutuuze ku kyalo Namuvundu mu ggoombolola y’e Butagaya mu disitulikiti y’e Jinja, yattiddwa mwana munne ali mu gy’obukulu 14.

Ekyavuddeko abaana okulwana tekimanyiddwa, wabula mu kiseera kino, omwana eyasse Byaguba, ali ku Poliisi e Jinja.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira- Jinja, James Mubi, omukulu w’essomero George Waibi, yatemeza ku Poliisi amangu ddala ng’omwana attiddwa.

Poliisi egamba nti okunoonyereza kulaga nti Byaguba yakubiddwa mu maaso ga baana banne, ekyalese abayizi bonna nga bali mu ntiisa.

Mubi agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga bazuula ekituufu ekyavuddeko okulwana wakati w’abayizi – https://www.youtube.com/watch?v=YolFbiHutjI&t=153s