Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okulaga nti asemberedde okuddamu okuwangula obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2026.
Museveni nga yazaalibwa nga 15, September, 1944 myaka 81 mu disitulikiti y’e Ntangamo, olunnaku olw’eggulo ku Mmande, yasobodde okufundikira okunoonya akalulu mu bitundu bya West Nile.

Museveni yakubye kampeyini ku kisaawe kye Paridi mu Tawuni Kanso y’e Adjumani mu disitulikiti y’e Adjumani ate akawungeezi, yasobodde okutongoza Kampeyeni ze mu bitundu bya Acholi era abadde disitulikiti y’e Amuru ku kisaawe ky’essomero lya Pabo Primary School mu Tawuni Kanso y’e Pabo.

Museveni bwe yabadde Adjumani, yasobodde okukwasa bendere abakulembeze abali ku kaadi ya NRM mu kitundu ekyo, omuli n’omukadde Moses Ali myaka 86.
Moses Ali yazaalibwa nga 5, April, 1939 mu disitulikiti y’e Adjumani.

Okuva 2011, Moses Ali abadde mubaka wa Palamenti owa East Moyo mu disitulikiti y’e Adjumani era akomyewo okuddamu okwesimbawo – https://www.youtube.com/watch?v=4IjJyDLw9aU