Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okulaga nti afaayo nnyo ku nsonga y’ebyokwerinda.
Pulezidenti Museveni avuddeyo emirundi mingi okusuubiza bannansi nti tewali muntu yenna ayinza kutabangula bya kwerinda mu ggwanga lino.
Okusinzira ku mukutu gwa Gavumenti ku X, Gavumenti ya Russia esobodde okuyamba Gavumenti ya Uganda n’okulwanyisa by’amaggye.
Eby’okulwanyisa bibalibwamu obukadde bwa ddoola 53 nga bisindikiddwa mu bitebe by’amaggye okuli Gaddafi, Magamaga ne Entebbe.
Bino byonna bikoleddwa, olw’enkolagana ennungi wakati wa Uganda ne Russia ssaako ne Gavumenti ya Pulezidenti Museveni okwongera okuteeka amaanyi mu kunyweza ebyokwerinda.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eJwUcEMxabg