Poliisi evuddeyo ku kyavuddeko okulumba Hoteero ya Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ekiro, ku Tembo Trek Courts mu kibuga Lira, ekivuddeko abantu ab’enjawulo okutambuza ebigambo.

Mu sitetimenti ya Poliisi, embeera yonna, yavudde ku bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) okulumba emmotoka ya Poliisi akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku luguudo Lira – Alebtong.

Emmotoka eyalumbiddwa UP 4816 wansi wa UBK 380Q.

Poliisi egamba nti ekibinja ky’abawagizi ba NUP nga bakulembeddwamu Geoffrey Unzima amanyikiddwa nga Tower bebakoze obulumbaganyi ku mmotoka, okuva mu kitongole ekinoonyereza ku misango, eyasindikibwa okwekeneenya entambuza ya laale ez’ekibiina ki NUP.

Emmotoka

– Yafumitiddwa emipiira gyonna 4

– Aba NUP ne batwala kompyuta ekika Laptop eya Dell

– Ensawo omwabadde ebintu by’omusirikale omu yatwaliddwa

– Okumenya ekisumuluzo by’emmotoka

– N’okubba amafuta ga diesel lita 20

Poliisi egamba nti okulumba Hoteero ekiro, kyakoleddwa okunoonya bannakibiina ki NUP abaakoze effujjo ku mmotoka yaabwe n’okubba ebintu era baakutteyo abantu 10 bokka.

Agamba nti bannakibiina ki NUP bakoze effujjo nga balumiriza emmotoka okubaamu ekyuma, ekitaataganya ‘Network’ yaabwe nga bali ku mitimbagano.

Kituuma Rusoke

Kituuma Rusoke, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, agamba nti bannakibiina ki NUP bazze nga bakola effujjo ku bantu baabwe era bangi bakubiddwa.

Agamba nti NUP egezaako okubasomooza, okugezaako okunoonya amasanyalaze singa bakubwamu Ttiyaggaasi naye kati teri kubattira ku liiso – https://www.youtube.com/watch?v=_KIssLpgC-s&t=2s

Bya Nalule Aminah