Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayongedde okulaga nti mu kuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino.
Abantu 8, bebavuganya ku bwa Pulezidenti era olunnaku olw’eggulo Bobi Wine yabadde Butambala ssaako ne Gomba.
Bobi Wine yasobodde okusaba abalonzi, okuvaayo mu bungi okulonda kuba balina omukisa okukyusa obukulembeze.
Bobi agamba nti bwe kiba Uganda erina abalonzi abali mu bukadde 19 ate nga bangi bavubuka, balina omukisa okukwata obukulembeze bw’eggwanga lino.
Bannansi, bagenda kulonda nga 15, January, 2026.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=30s