Bannakibiina ki National Resistance Movement (NRM) balina essuubi nti ssentebe w’ekibiina kyabwe Yoweri Kaguta Museveni agenda kuddamu okuwangula obwa Pulezidenti bwa Uganda.
Olunnaku olw’eggulo, Muzeeyi Museveni yabadde mu disitulikiti y’e Soroti ne Serere.
Museveni yawadde abalonzi essuubi nti singa baddamu okumwesiga ku bukulembeze bw’eggwanga lino, agenda kweyongera okuteeka amaanyi mu

  • Kulwanyisa obwavu
  • Okuyimusa ebyenfuna
  • Okwongera amaanyi mu kunyweza ebyokwerinda n’ensonga endala.

Mu kutambula kwa muzeeyi Museveni, omuyimbi Dr Jose Chameleone ayongedde amaanyi mu nkambi ya NRM n’abayimbi abalala omuli Eddy Kenzo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=eT1X9bTTH6A&t=30s