Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alaze abalonzi b’e Kiruhura nti kisoboka Uganda okufuna enkyukakyuka mu kulonda kwa 2026 nga bayise mu kalulu.
Bobi Wine agamba nti asobodde okutambula disitulikiti ezisukka 50 era bannayuganda balaze nti, bakooye betaaga nkyukakyuka.
Asabye abalonzi okuvaayo mu lwatu ate mu bungi nga 15, January, 2026, balonde ate bakuume akalulu kaabwe.













Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rdT6EPPYQ8k