Gavumenti mu ggwanga erya Nigeria, atandiise okunoonyereza ku kyavuddeko akabenje k’ennyonyi akasse abantu 7.
Ennyonyi eyagudde mu kibuga Abuja yabaddemu bannamaggye 7 era bonna kati z’embuyaga ezikunta.
Ennyonyi yabadde eva mu kibuga Abuja okudda mu bitundu bye Minna mu ssaza lye Niger era kigambibwa yafunye obuzibu ku Yingini, ekyavuddeko okugwa nga yakayimuka.
BAMBI! Wuuno munnamaggye afiiridde mu kabenje k’ennyonyi e Ntebe, UPDF kyaddaki eyogedde amazima
Wabula omukulembeze w’eggwanga Muhammadu Buhari agambye nti eggwanga lifiiriddwa nnyo bannamaggye, abakozi, abesigwa mu kuwereza eggwanga lyabwe.
Asuubiza okunoonyereza, eggwanga ne famire okutegeezebwa ekyavuddeko akabenje.
Buhari mu ngeri y’emu asuubiza nti Gavumenti ye yakuyambako, famire z’abagenzi.