Abakiise ba Palamenti batabukidde Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo ku ‘List’ y’abantu abazze abatwalibwa ebitongole ebikuuma ddembe okuva omwaka oguwedde ogwa 2020 era nga bazze banoonyezebwa.

Mu Palamenti ebadde ekubirizibwa amyuka sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah, Minisita Odongo ayanjulidde Palamenti ‘List’ y’abantu 176 abazze batwalibwa.
Minisita Odongo agamba abantu 43 baakwatibwa lwa kwekalakaasa, 156 lwakusangibwa n’ebintu by’amaggye, 17 baakwatibwa nga batekateeka kwekalakaasa oluvanyuma lw’okulonda ate abantu 6 bayimbulwa kakalu ka Poliisi.

Mungeri y’emu agambye nti abantu abaakwatibwa bali ku limanda e Makindye nga aba famire balina okufuna olukusa ku bitebe bya Poliisi mu bitundu byabwe, okubakkiriza okubakyalirako.
Wabula omubaka we Kalungu West Joseph Ssewungu Gonzaga, atabukidde Minisita Odongo, okulemwa okutegeeza eggwanga abantu bonna abazze bakwatibwa gye bateekeddwa okusinga okulaga abo bokka abali ku limanda e Makindye.
Ssewungu yegatiddwako, omwogezi w’ekibiina ki FDC era omubaka we Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda, Omubaka w’ekibuga Masaka Mpuuga Mathias, Lwemiyaga – Theodore Ssekikubo n’abalala, okuwakanya ‘List’ ya Minisita ku bantu abazze bakwattibwa.

Omubaka Mpuuga awadde Minisita ‘List’ y’abantu 423 gye yafunye ku bantu abazze batwalibwa kwe kutegeeza nti ‘List’ gy’afulumizza esukkiridde okubaamu ebituli.

Wabula Minisita Odongo mu kwanukula, asuubiza nti Gavumenti yakwongera okunoonya abantu abazze batwalibwa singa amannya gaabwe gafunika ssaako n’ebitundu gye bagibwa.
Mu Uganda, abantu bazze batwalibwa emmotoka ezakazibwako eza ‘Drone’ okuva omwaka oguwedde mu November, 2020 era kigambibwa waliwo abattiddwa, abamu batulugunyiziddwa nga banyiga biwundu mu kiseera kino.
Ababaka ba Palamenti okuva ku ludda oluvuganya bagamba nti bangi ku bantu abazze batwalibwa mu mikono gya Poliisi n’amaggye nga bali mu ‘Safe Houses’ era bagamba nti ‘List’ ya Minisita Odongo eremeddwa okulaga bantu bonna abazze batwalibwa gye bali.
Omwezi oguwedde ogwa Febwali, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni bwe yali ayogerako eri eggwanga ku nsonga y’abantu abaali bawambibwa, yalagira ebitongole ebikuuma ddembe okuvaayo ne ‘List’ y’abantu bonna abali mu mikono gyabwe kyokka ‘List’ ya Minisita Odongo ekubiddwamu ebituli.