Abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe, balabudde abasuubira okwenyigira mu kukola mu kulonda okubindabinda okwa sabiiti ejja ku Lwokuna nti ku mulundi guno tewali gwe bagenda kuttira ku liiso.

Mu nsisinkano ebadde ku kitebe kya Poliisi e Naguru, ekulembeddwamu Minisita w’ebyokwerinda Adolf Mwesige, Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga munnamaggye Gen Jeje Odongo, Ssabaduumizi wa Poliisi Martin Ochola, omumyuka we Maj Gen Paul Lokech, amyuka adduumira amaggye g’oku ttaka Lt Gen Sam Kavuma, akulira ekitongole ky’amakkomera Johnson Byabasaijja bonna bawanjagidde bannayuganda okwewala okwenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo.

Ssabaduumizi wa Poliisi Martin Ochola
Ssabaduumizi wa Poliisi Martin Ochola

Ku lwa Poliisi, Ochola agamba nti bakulungudde emyaka egisukka 2 nga beteekateeka okutangira effujjo mu kulonda okusembedde, era omuntu yenna anagezaako okutabangula emirembe, wakwejjusa lwaki yazaalibwa.

Ochola abadde omukambwe agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda era abakozi b’effujjo, tewali kubattira ku liiso.

Ochola ku Fujjo

Ate Amyuka adduumira Poliisi mu ggwanga Maj Gen Lokech alabudde abalonzi okudda awaka oluvanyuma lw’okulonda.

Agamba nti olw’okutangira Covid-19 okusasaana, akakiiko k’ebyokulonda kaasabye ekitongole ekya Poliisi, abantu bonna okudda awaka oluvanyuma lw’okulonda okusobola okutangira abantu okungaana era Poliisi yetegese, okukiteeka mu nkola.

Ate Minisita Mwesige, alabudde abantu bonna abesimbyewo okuwa ekitiibwa ebinaalangirirwa akakiiko kebyokulonda.

Minisita agamba nti okwerangirira kimenya amateeka era ekiyinza kiyinza okutabangula eggwanga lino nga tebayinza kukikiriza.