Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa ku kisaawe e Kololo mu kwetekerateekera okungubagira, abadde Ssaabasumba wa Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga, eyafudde sabiiti ewedde ku Lwomukaaga nga 3, April, 2021.

Okusinzira kw’alipoota y’abasawo, Ssaabasumba Lwanga yafa nga kivudde ku mutima okwesiba.

Omulambo gwa Ssaabasumba Lwanga e Kololo

Olunnaku olwaleero, Gavumenti lw’ekungubaga mu butongole nga ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ye mukungubazi omukulu.

Pulezidenti Museveni ne mukyala we Janet

Okusinzira ku ntekateeka, ku ssaawa 4 ez’okumakya, abantu baakufuna omukisa okukuba eriiso evanyuma ku mugenzi Ssaabasumba Lwanga oluvanyuma, wabeewo okwongera okuva mu bakulembeze ab’enjawulo omuli ne Pulezidenti Museveni.

Pulezidenti Museveni ne Janet e Kololo

Entekateeka eraga nti ku ssaawa 8 ez’emisana, omulambo gulina okuba nga gutuuse e Kyabakadde mu disitulikiti y’e Mukono ku kyalo gyazaalibwa era bategese ekitambiro ky’emissa, okusabira omwoyo gw’omugenzi, ekigenda okulemberwamu the Rt Rev Christopher Kakooza.

Mu kiseera kino ku kisaawe e Kololo, ebyokwerinda byongedde okunywezebwa olwa Pulezidenti Museveni, agenda okwetaba mu kungubaga kwa leero era waliwo abantu abaganiddwa okuyingira munda mu kisaawe e Kololo.

Abakungu abalala abali e Kololo mwe muli sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga myaka 64, Ssaabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda myaka 73, Minisita w’ensonga z’obwa Pulezidenti , Esther Mbayo n’abalala.

Rugunda ne Kadaga e Kololo

Entekateeka eraga nti enkya ku Lwakusatu nga 7, March, 2021, ekereziya etegese mmisa e Namugongo ku ssaawa nnya (4) ez’enkya, ejja kukulirwa Bp. Severus Jjumba ate ku Lwokuna nga 8, March, 2021, mmisa ku lutikko e Lubaga ku ssaawa nnya (4) ez’enkya n’okuziika e Lubaga. Mmisa ejja kukulirwa Bp. Joseph Anthony Zziwa.

Cyprian Kizito Lwanga yazaalibwa nga 19, January, 1953 ku kyalo Kyabakadde mu ggoombolola y’e Naggalama mu disitulikiti y’e Mukono era yafiiridde ku myaka 68.

Yasomerako ku Kyabakadde Primary School ate neyegatta ku Nyenga Seminary mu 1972 ate mu 1974 ku Katigondo National Major Seminary mu disitulikiti y’e Kalungu era yafiiridde ku myaka 68.

Okufuna ebisingawo – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/799419384050822