DPC omufere akiguddeko, bamutwala mu kkooti!
Poliisi y’e Kiira ekutte omusajja ali mu gy’obukulu 40 ku misango gy’okweyita addumira Poliisi mu bitundu bye Kiira Dauda Hiriga.
Gabriel Mukiibi, nga mutuuze ku kyalo Wakitaka cell mu kibuga kye Jinja yakwattiddwa ng’asangiddwa yekwese ku kyalo kye.
Kigambibwa emirundi mingi, Mukiibi abadde yeeyita DPC Hiriga, okuggya mu bantu ensimbi nga yefudde agenda okuyamba, famire z’abasirikale abafiiriddwako abantu baabwe.
Abantu ne Fakitole, abadde abagyako ssente wakati w’emitwalo 300,000 ku 1,000,000 ssaako n’okuteeka emisanvu mu kkubo, okuggyako abantu ensimbi, abatambula mu ssaawa za Kafyu.
Ku Poliisi, Mukiibi akkiriza okuggya ku bantu ssente kwe kusaba Poliisi okumusonyiwa.
Wabula Abbey Ngako, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, agambye nti enneyisa ya Mukiibi ebadde esukkiridde okusiiga Poliisi enziro era okumukwata kigenda kuyambako okulongoosa ekifaananyi kyabwe.
Mukiibi aguddwako emisango esatu (3) omuli okweyita kyatali, okuggya ku bantu ssente mu lukujjukujju ssaako n’okwenyigira mu kubba ettaka.
Ate ekitongole ekiramuzi kisabukuludde enkola empya ey’okulwanyisa obuli bw’enguzi mu kkooti za Uganda.
Enkya ya leero, batongoza Yunifoomu, ezigenda okwambalwa abakozi ba kkooti, ng’emu ku ngeri y’okulwanyisa obuli bw’enguzi.
Okusinzira ku muwandiisi ow’enkalakalira mu kitongole ekiramuzi Pius Bigirimana, enguzi ebadde esukkiridde mu kkooti nga waliwo n’abantu abayingira kkooti nga si bakozi, okwenyigira mu kulya enguzi n’okusiiga ekitongole enziro.
Bigirimana agamba nti Yunifoomu zigenda kuyamba nnyo abakozi ba kkooti okubawula ku bantu babuligyo abagenda mu kkooti, okuwuliriza emisango gyabwe ssaako n’okuzuula abakozi baabwe abenyigidde mu kulya enguzi.

Omukolo, gubadde ku kkooti enkulu mu Kampala era okusinzira ku Bigirimana, Yunifoomu zigenda kutandikira ku bakozi 550 nga 450 Bakiraaka ba kkooti ate 100 Bedereeva.
Ku Yunifoomu, kugenda kuteekebwako amannya g’abakozi ssaako n’emirimu gyabwe nga kigenda kuyambako, abantu okutegeera abakozi ba kkooti abatuufu ssaako n’abafere abaludde nga banyaga ku bantu ssente zaabwe.
Wabula omwogezi wekibiina ki National Unity Platform (NUP) Joel Ssenyonyi agamba nti bakooye obubbi bwa ssente mu Gavumenti.
Ssenyonyi agamba nti bannayuganda bakooye omuwa emisolo nga ssente zitwalibwa abakozi mu Gavumenti ne balemwa okutuusa ku bantu ebintu ebiyinza okubayamba omuli amalwaliro amalungi, amassomero, enguudo n’ebintu ebirala.
Ebirala ebiri mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1109743642826890