Poliisi y’e Nagalama ekutte taata ali mu gy’obukulu 40 ku misango gy’okusobya ku baana be beyezaalira, okubazaalamu ssaako n’okubagisaamu embutto.
Taata Shaban Nfudu Kasakye nga mutuuze ku kyalo Kabembe mu ggoombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono yakwattiddwa.
Shaban Nfudu abadde yakasobya ku baana abasukka 3 omuli myaka 22, 17, 13 ssaako n’abazuukulu be babiri (2) abali mwaka ogumu.
Okusinzira ku Poliisi, omuwala ku myaka 17 yamuzaalamu omwana kyokka yazzeemu namutikka olubuto nga luyingidde emyezi 5 nga n’omwana omuto ku myaka 13 ali mu kibiina eky’omukaaga (P6), yamutikka olubuto kyokka ne balugyamu, okusobola okumuzaayo ku ssomero.
Shaban Nfudu alina abaana abasukka 30, nga ku baana be yakasobyako, bonna abadde abasuubiza okubatta singa bategezaako omuntu yenna omuli n’omuwala omukulu ku myaka 22.
Nfudu abadde asula mu kazigo kamu ssako n’abaana be wamu n’abazukkulu era okubasobyako abadde yagufuula mulimu.
Abakulembeze b’oku kyalo abalwanyisa okukabasanya abaana nga bakulembeddwamu Tebasiima Prossy, bayingidde mu nsonga ezo ne batemya ku Poliisi y’e Nkonge era amangu ddala taata Shaban Nfudu akwattiddwa era asindikiddwa ku Poliisi y’e Naggalama.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agambye nti Poliisi etandikiddewo okunoonyereza ng’abaana bagiddwako sitetimenti.
Ate Poliisi y’e Mayuge ekutte abasuubuzi abagundivu babiri (2) ku by’okutunda Buto omugingirire.
Abakwattiddwa kuliko Ronald Kawanguzi ne Habibu Waigolo nga batuuze mu zzooni y’e Dwanilo mu Tawuni Kanso y’e Mayuge mu disitulikiti y’e Mayuge.
Okusinzira ku Poliisi, abakwate baludde nga batunda buto omugingirire ku layisi, ekivaako abantu okubetanira.
Buto omutuufu, Lita etuundibwa shs 6,500 wabula abasuubuzi abakwatiddwa, baludde nga batunda buto Lita ku shs 5,000.
Patrick Babalanda, ssentebe w’abasuubuzi mu Tawuni Kanso y’e Mayuge agamba nti abantu okutunda ebintu ebigingirire, kiviriddeko Kampuni okufiirwa ssente ssaako n’abantu okutwala ebintu ebiyinza okubalwaza endwadde.
Ate Bashir Siriba, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge agamba nti bafunye okuteegezebwa okuva mu batuuze, nti abasuubuzi abakwattiddwa baludde nga bapangisa abantu okulonda ebiveera ebisuuliddwa ebya Buto ne baddamu okubyoza, okusobola okuzaamu Buto omugingirire ku layisi.
Mungeri y’emu agamba nti Poliisi esobodde okufuna ebizibiti era essaawa yonna abakwate bagenda kutwalibwa mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/watch/live/?v=2938210526437158&ref=watch_permalink