Eyali omwogezi wa Palamenti Chris Obore y’omu ku basajja abasanyufu oluvanyuma lw’omubaka omukyala ow’e Bukedea Anita Annet Among okuwangula eky’okumyuka sipiika mu Palamenti y’e 11 akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Among eyaliko munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) myaka 47 yawangudde abantu babiri (2) omuli omubaka wa Kampala Central atalina kibiina Muhammad Nsereko ne Yusuf Nsibambi owa  Forum for Democratic Change (FDC).

Among

Okusinzira ku byavudde mu kulonda Among yafunye obululu 415, Nsereko 24 ate Nsibambi 35.

Wabula Obore y’omu ku bantu abasanyufu era essanyu lye aliraga mu lwatu.

Obore

Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikuttu migatta bantu, kiraga nti Among yabadde mu ddiiro oluvanyuma lw’okulondebwa ku ky’okumyuka sipiika era Obore okulaga nti y’omu ku bantu abali mu ssanyu, yalaze nti asobola okuzina singa afuna omukisa nga waliwo ekimusanyusizza era okulaga nti alina talanta, endongo agikubidde mu ddiiro wakati mu kuyisa ebivvulu ne mikwano gye.

Vidiyo

Wabula ku nsonga ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okusalawo ani alina okulondebwa ku kya sipiika wakati wa Rebecca Alitwala Kadaga ne Jacob Aulanyah, agamba nti “nze sirina ludda lwa muntu yenna gwe mpagira sisobola kwawulayawula mu bantu bange benkulembera kyabulabe siiniya okwawula mu bantu be baakulembera“.

Mu kulonda, ababaka ba Palamenti bavuddeyo mu bungi ddala ne balonda Aulanyah okudda mu bigere bya Kadaga ku kya sipiika wa Palamenti.

Museveni agamba mu NRM balina olukiiko lw’oku ntikko olwa CEC oluyina okusalawo ku nsonga enkulu mu kibiina.
Agamba nti olukiiko lwavuddeyo okuwagira Aulanyah ku bwa sipiika era naye nga ssentebe wa NRM era omukulembeze mu kibiina, yabadde alina okuwagira Aulanyah n’okunoonya akalulu.

Museveni agamba nti yakubidde ababaka amassimu okubasaba n’okubajjukiza okuwagira Aulanyah kuba yabadde akulembeddemu ekibiina.

Mu kulonda Aulanyah, yafunye obululu 310, Kadaga yakutte kyakubiri n’obululu 197 ate munna FDC era omubaka we Kiira Ibrahim Ssemujju Nganda yekwebedde mu kyokusatu ng’afunye obululu 15.

Okufuna ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1439551016388920