Laba ekyana!

Omuyimbi Winnie Nwagi ayongedde okulaga nti mu Uganda, y’omu ku bayimbi abakyala abalina talenti era mu bakyala abakoze obulungi okutunda ekisaawe ky’okuyimba.
Wakati mu kulwanyisa Covid-19, Nwagi yakubye oluyimba ‘Sasi Ku Nyama’ olufuuse ensonga ku laadiyo, Ttiivi n’emikutu migatta bantu.

Ku mukutu ogwa Instagram, Nwagi aliko omuwala (ekyana) gw’ataddeyo ng’azinira ku luyimba lwe.
Ekyana kibadde mu ggiimu era kiraga nti kibadde kyakamala okukola diyiro.
Wakati mu kwekyanga, abasajja abamu basigadde bayiika ndusu anti obwedda aliko engeri gy’akyusa ekiwato n’okuyimusa akabina.

Ng’omuntu omulala yenna, obulamu bwa kiseera, ebirwadde bitta bantu omuli ne Covid-19 era kati buli muntu yenna waddembe okulya obulamu mu ngeri ye.

https://www.instagram.com/p/CQHQwIFl2wa/

https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/594256361541985