Lt. Gen Muhoozi akomyewo!

Kyaddaki omukulembeze w’eggwanga lino era omuddumizi w’amaggye ow’okuntikko Yoweri Kaguta Museveni alonze Lt. Gen Wilson Mbadi okudda mu bigere bya Gen. David Muhoozi ku ky’okuddumira amaggye mu ggwanga era amulinyisizza eddaala okuva ku Lt. Gen okudda ku Gen.
Mungeri y’emu Museveni alonze mutabani we Lt. Gen Muhoozi Kainerugaba, okuddumira amaggye g’oku ttaka.

Ate Lt Gen Peter Elwelu alondeddwa ku ky’okumyuka omuddumizi w’amaggye.

Kinnajjukirwa nti Museveni yalonze Gen. Muhoozi abadde addumira amaggye nga Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga era y’emu ku nsonga lwaki alonze Gen. Mbadi okudda mu bigere bye.

Gen Mbadi

Gen Mbadi yazaalibwa 6, Ogwomukaaga, 1962 nga mu kiseera kino ali gy’obukulu 59 era yabadde amyuka Gen. Muhoozi ku ky’okuddumira amaggye.

Mungeri y’emu Lt. Ge Muhoozi Kainerugaba myaka 47 yabadde addumira eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga lino erya Special Forces Command (SFC) wabula kati yagenda okuddumira amaggye g’oku ttaka.

Lt. General Muhoozi Kainerugaba

Ate Lt Gen. Elwelu eyakyaaka ennyo ku ky’okulemberamu okulumba olubiri lw’Omusinga e Kasese 2016, omwafiira abasuuka mu 100 yabadde addumira amaggye g’oku ttaka wabula asindikiddwa okumyuka Gen. Mbadi ku ky’okuddumira amaggye.

Lt Gen. Elwelu

Mu nkyukakyuka endala, Museveni alonze Brig. Peter Chandia okuddumira eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya Special Forces Commander, Maj Gen Sam Kavuma alondeddwa okumyuka omukwanaganya wa Operation Wealth Creation ate Maj Gen Sam Okiding alondeddwa okumyuka Lt. General Muhoozi Kainerugaba ku ky’okuddumira amaggye g’oku ttaka.

Ate wakati mu kulwanyisa Covid-19, Pulezidenti Museveni alangiridde olunaku olw’enkya ku lw’okutaano nga 24, June, 2021 nti lunnaku lwakuwumula mu ggwanga lyonna okwetaba mu kusabira eggwanga n’okusaba Mukama atusasire, ekirwadde ki Covid-19 ekyongedde okuwanika amatanda.
Okusinzira ku kiwandiiko okuva mu maka g’obwa Pulezidenti, okusaba kutwaliddwa mu State House Entebe ku ssaawa 6 ez’emisana, era abakulembeze ab’enkizo bebayitiddwa omuli abakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo mu ggwanga.
Ku ntekateeka z’okusabira eggwanga, omwogezi w’omuzikiti gwa Kampala mukadadde Ashiraf Zziwa agamba nti kati ye ssaawa okudda eri Omutonzi, okusobola okumukwasa eggwanga lino kuba yekka yasobola okuyamba okutaasa embeera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/345564977142847