Omuyimbi wa Kadongo Kamu Hassan Ndugga Bamweyana ali mu maziga era agamba nti yevuma olunnaku lwe yakwata omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu ngalo.
Nduga agamba nti afunye ebizibu ebyenjawulo oluvanyuma lw’okukwata Kaguta mu ngalo wadde yakula yegomba Pulezidenti okumutukako.
Agamba nti oluvanyuma lw’okusisinkana Pulezidenti, Laandiloodi yamugoba mu nnyumba nti alina ssente kyokka alemeddwa okuvaayo okutegeeza nsi nti tennaba kulya ku ssente.
Mu luyimba, ‘Kaguta Onvumizza’ Nduga agamba nti Gavumenti ya NRM ekoze nnyo okulemesa ebitone era akizudde nti bantu bazibu nnyo.

Omuyimbi Nduga ne Museveni

Nduga y’omu ku bayimbi abakoze ennyo okuyimirizaawo ekisaawe ky’okuyimba mu Kadongo Kamu era agamba nti Pulezidenti Museveni okuyimiriza ebivvulu olw’okutangira okusasaanya Covid-19, ali mu mbeera mbi kuba talina ssente era kati abonabona.
Agamba nti emikwano n’aba famire baamukyawa nga balowooza nti yafuna ssente kyokka teyafuna wadde 100.

Wakati mu kuyimba, Nduga agamba nti ali mu mbeera mbi olwa NRM, engoye zimuweddeko kyokka aba famire bagamba nti yafuna ssente okuva ewa Pulezidenti.

Mu luyimba, asabye abantu ab’enjawulo okuvaayo okumuyamba omuli muganda wa Pulezidenti Museveni Major General Salim Saleh kuba tali mu mbeera nnungi.
Agamba nti Ssaabavvulu Balaam Barugahare eyabadde amuyamba kuba musajja alina ekisa kyokka agamba nti eby’abayimbi byamutama kuba Big Eye ne Micheal bafuuka kizibu.

Nduga era agamba nti wadde omuyimbi Catherine Kusasira alina omukisa okutuuka mu offiisi ez’enjawulo, naye alemeddwa okumuyamba mu kiseera kino nga yetaaga okuyambibwa.

Olw’embeera gy’alimu, Omuyimbi Nduga agamba nti n’omukyala yagenda kuba yali alowooza nti alina omukyala omulala kuba alaga nti talina ssente kyokka alina ekirowoozo nti Pulezidenti Museveni yamuwa ssente.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/795052147879754

Pulezidenti Museveni akoze nnyo okusembeza abayimbi mu bukulembeze bwe era kyongedde okwawulamu abayimbi n’ekisaawe ky’okuyimba.
Mu bayimbi, mulimu abawagira Pulezidenti Museveni omuli Bebe Cool, Kusasira, Ronald Mayinja n’abalala kyokka waliwo abagamba nti Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yagwanidde okuba Pulezidenti w’eggwanga lino Uganda.

Link y’oluyimba

https://www.youtube.com/watch?v=2h3jPzmfr4k