Poliisi y’e Kiira ekutte abakulembera bakkondo munaana (8) abaludde nga batigomya abatuuze mu bitundu bye Jinja.

Abakwate bakkondo bagiddwa mu bitundu bye Bugembe, Mafubira, Masese ne Mpumudde, mu kikwekweeto ekikoleddwa ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi, amaggye ne LDU.

Abakwattiddwa, bakulembera ababbi abatigomya abantu mu kunyakula amassimu, okutambuza ebicupuli bya ssente, okumenya amayumba ne batwala ebintu ssaako n’okusika ensawo z’abakyala.

Bakkondo abali ku Poliisi y’e Kiira mwe muli Umar Sande, Matia Kadam, Twahir Kanakulya, Sam Kasadha, Junior Kasule, Ashiraf Kalema, Robert Ssenyonga ne mukama waabwe Suleiman Magezi amanyikiddwa nga Eastern giant.

Mu kwekebejja gye basula, Poliisi ezuddeyo ebintu ebyenjawulo omuli amassimu 25, Layini z’essimu 42, ebicupuli bya ssente eby’emitwalo 50,000, nga bya mitwalo 950,000 nga biri mu nsawo y’emu omusangiddwa emitwalo 730,000 nga zo ntuufu.

Wabula addumira Poliisi ku Poliisi y’e Kiira Dauda Hiriga, agamba nti Poliisi eri mu kutekateeka fayiro zaabwe, okutwalibwa mu kkooti.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Dokolo ekutte abantu basatu (3) ku misango gy’okutta omusuubuzi myaka 38.

Abakwate kuliko Simon Agali omutuuze ku kyalo Apala cell mu ggoombolola y’e Agwata, Wasebo Ebong mutuuze mu ggoombolola y’e Chawente e Kwania ne Pasquwelli Ebong omutuuze we Owiny era mu disitulikiti y’e Kwania.

Kigambibwa benyigidde mu kutta omusuubuzi Middy Amek abadde omutuuze ku kyalo Acungapenyi cell mu ggoombolola y’e Kacung Western Ward mu disitulikiti y’e Dokolo.

Ebiriwo biraga nti Ebong eyabadde mu mukwano ne Amek era yafunye obutakaanya n’omugenzi.

Omugenzi abadde mukyala muvubi era akawungeezi k’olunnaku Olwokuna, yalabwako ku kizinga kye Awany mu ggoombolola y’e Kacung Eastern ward mu Tawuni Kanso y’e Agwata.

Omusuubuzi yabula kyokka omulambo gwe gwazuuliddwa nga guziikiddwa mita 5 okumpi n’amakaage.

Obwambe bubiri (2) nga bujjudde omusaayi, omuggo omunene ssaako ne ssuuka nga ziriko omusaayi, bisangiddwa mu nju y’omugenzi.

Bosco Ojok, ssentebe wa LCII e Kacunga Eastern ward agamba nti abakwate bakwattiddwa abakulembeze ku kyalo ne bakwasibwa ekitebe kya Poliisi e Dokolo.

Jimmy Patrick Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye North Kyoga agamba nti omulambo gukwasiddwa aba famire okuziikibwa.

Okema agamba nti okunoonyereza ku batemu kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901