Abakulembeze ssaako n’abazadde mu disitulikiti y’e Amuru basobeddwa ku ngeri abaana abato, gye begumbulidde okwegatta wakati mu kulwanyisa Covid-19, ekivudde okufuna embutto ku myaka emito.
Okusinzira kw’alipoota ekoleddwa ekitongole ky’obwannakyewa ekya African Medical and Research Foundation Uganda nga begatiddwako abakulembeze ku byalo, abaana abato, begumbulidde okwegadanga.
Alipoota eraga nti mu ggoombolola y’e Amuru, mu nnaku 35 eziyise ng’abaana abali ku muggalo ogw’ennaku 42, abaana 170 bazuuliddwa nga bali mbutto.
Abasinze okufuna embutto, bali mu kibiina kya mukaaga (P6) ne ky’omusanvu (P7) wakati w’emyaka 15 – 17.
Abaana babadde begadanga ne baana banaabwe ssaako n’abasajja abakulu, ekyongedde okutiisa abakulembeze n’abazadde.
Alipoota eraga nti bangi ku baana batikiddwa embutto kyokka abazadde baasirikira ensonga.
Abakulembeze ku byalo, bawanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyamba okuzza abayizi ku massomero ng’abazadde, okukeera okunoonya eky’okulya, abaana ne badda mu kutayaaya, y’emu ku nsonga lwaki bangi bafunye embutto.
Wabula omukwanaganya w’ekibiina ekirondoola eddembe ly’abakyala ekya Forum for Women in Democracy (FOWODE) mu disitulikiti y’e Gulu, Brenda Aromorach, agamba nti eky’abaana abawala okufuna embutto, kiraga nti Uganda egenda kufuna abakyala, bakazadde b’eggwanga abataasoma, ekintu eky’obulabe.
Ate abazigu abatamanyiddwa balumbye edduka ly’omusubuuzi mu kibuuga Mukono ne batwala emmaali, eri mu bukadde bwa ssente 16 ekirese abatuuze nga basobeddwa.
Omusuubuzi Mugambwa Paul Bob nga ye nnanyini dduka lya Kingdom electronics and appliance center mu kibuuga Mukono wakati, abangi webayita ku ssaawa ya mayor yabiddwako ebintu bye.
Ababbi basobodde okuyita mu siriingi ne batwala ttiivi eza Flat Screen ezisukka 10, Emizindaalo, obuuma obusala enviiri ssaako n’ebintu ebirala.
Mugambwa kabuze kata akulukuse ku maziga era awanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya abatutte ebintu bye kuba embeera mbi ate ssente za bbanja.
Ate bo abatuuze, batabukidde ebitongole ebikuuma ddembe okubasindikirizza okudda awaka mu ssaawa za kafyu ate ne balemwa okutangira okubba ebintu byabwe.
Abatuuze, bagamba nti obubbi bweyongedde mu kitundu kyabwe, ekiraga nti abasirikale balemeddwa emirimu gyabwe.
Ku nsonga ezo, RDC we Mukono Fatumah Nabitaka Ndisaba agamba nti Mukono erina okusoomozebwa okwenjawulo ekivuddeko n’ababbi okweyongera.
RDC agamba nti abantu beyongedde obungi ate ng’abasirikale bakyali batono, amakkubo agatuuka mu kibuga Mukono mangi ddala wabula ebikwekweeto bigenda kweyongera okunoonya abakyamu abali mu kitundu kyabwe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/550061812791390