Munnakatemba Anne Kansiime y’omu ku bakyala abasanyufu mu kiseera kino oluvanyuma lw’okuzaalira bba omwana.
Kansiime asobodde okuzaala omwana omulenzi okusinzira ku mukutu gwa Sanyuka TV era amawulire nti azadde gatandiise okutambula akawungeezi ka leero.

Mu kiseera kino bba Abraham Tukahiirwa amanyikiddwa nga Skylanta naye y’omu ku basajja abasanyufu mu kiseera kino.

Essanyu libuutikidde bazadde b’omwana Shifa Nambusi eyakwattibwa nasindikibwa mu kkomera ku misango gy’okusobya ku mwana omuto omulenzi myaka 4.

Nambusi ali mu gy’obukulu 17 abadde ku limanda okumala omwaka mulamba.

Mu gwokubiri, 2020, Nambusi eyali omukozi w’awaka ku kyalo Kitende mu Tawuni Kanso y’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso yakwatibwa ku misango gy’okudda ku mwana wa mukama we, myaka 4 namusobyako.

Wabula akawungezi ka leero, omuwaabi wa Gavumenti Mariam Njuki, agambye nti ssaabawaabi wa Gavumenti, Nambusi amugyeko omusango nga kivudde ku bujjulizi okubula.

Nambusi wadde akulungudde ku limanda omwaka mulamba, okola obwa yaaya, yali agenze kunoonya ssente okweyongera okusoma, okumala S6 wabula kigambibwa olw’abanja ssente, mukama we namuggulako omusango gy’okusobya ku mwana we.

Omwana oluyimbuddwa, kitaawe Abdu Kaziba ali mu gy’obukulu 60 nga muzimba, wakati mu ssanyu, asabidde omulamuzi Wilson Kwesiga abadde musango gwa mwana we okuwangala, ku ky’okuyimbula omwana.

Ate abasajja beyongedde okwekubira enduulu mu offiisi ya RDC Geoffrey Oceng mu disitulikiti y’e Amuru olw’abakyala, okwetanira enkola y’ekizaala gumba nga tebategeezeddwako.

Ku ntandikwa y’omwezi guno, ssemaka omutuuze mu kyalo Labala mu disitulikiti y’e Amuru, yakuba mukyala we okutuusa lwe yafa lwa kweyambisa ‘Family Planning’ nga tebakanyiza.

RDC Oceng agamba nti mu sabiiti 2 zokka, afunye alipoota za misango 9 egy’abakyala abakubiddwa nga kivudde ku ‘Family Planning’.

RDC agamba nti abasajja bakooye okwonoona ebiseera mu kusinda omukwano nga banoonya abaana, okaddiya amasuuka naye ng’abakyala, bakongoola bakongoole. Bw’abadde awayamu naffe, asabye ebitongole ebiri ku ddimu ly’okubunyisa enjiri y’ekizaala gumba, n’abasajja okubasomesa nga bali ne bakyala baabwe, okuyambako mu kutangira okulwanagana.