Nga wasigadde ssaawa mbale, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okwogerako eri eggwanga ku ssaawa 2 ez’ekiro kya leero ku Lwokutaano, ku nsonga z’okulwanyisa Covid-19 ssaako n’omuggalo ogw’ennaku 42 oguweddeko, nate abasawo bakoze okulabula okwamangu.

Abasawo, abegatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Association (UMA), balabudde nti singa Pulezidenti Museveni, akkiriza abantu okudda ku mirimu nga tebagemeddwa Covid-19, essaawa yonna basuubire okuddayo ku muggalo nga Uganda efunye ‘Wave’ ey’okusatu ey’obulwadde bwa Covid-19.

Abasawo bano nga bakulembeddwamu Richard Idro nga basinzira e Mulago, bagambye nti Gavumenti yandibadde yeyambisa ekiseera kino ng’abantu bali ku muggalo okugema abantu okusinga okugyawo omuggalo nga tebagemeddwa.

Mungeri y’emu balangiridde nti mu nnaku 60 bagenda kuteeka wansi ebikola singa Gavumenti eremwa okuvaayo okukola ku nsonga zaabwe.

Bagamba nti Gavumenti yabasuubiza okuboongeza omusaala mu Gwomukaaga, 2021 kyokka n’okutuusa lwaleero, ekyalemeddwa okuboongeza omusaala.

Covid-19, afuuse ensonga, nga mu nsi yonna yakatta abantu obukadde 4,218,771 nga, Uganda yakafiirwako abantu 2,605.

Ensi, ezikoseddwa ennyo ezakafiirwa abantu abangi kuliko America, India, Brazil, Russia, Bufalansa, Bungereza ate wano mu Africa kuliko South Africa, Morocco, Misiri, Kenya, Zambia, Nigeria ssaako n’ensi endala.

Wano mu Uganda, bannadiini nga bakulembeddwamu ab’enzikiriza y’abalokole olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga, bategese okusabira eggwanga lino.

Bagamba nti bagenda kweyambisa Ttiivi ne Laadiyo nga basinzira ku kisaawe e Kololo okusabira eggwanga.

Nga bakulembeddwamu Pasita John Bunjo, bagamba nti balina okusabira eggwanga okuvunuka obulwadde bwa Covid-19, abantu okufuna eky’okulya, okusabira obuli bw’enguzi mu ggwanga, ssaako n’ensonga endala.

Pasita Wilson Bugembe agamba nti Omutonzi yasigadde okutaasa embeera.

Ate ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board(UNEB) kigamba nti omugatte gw’ abayizi abawera 18,415  bagudde ebibuuzo bya ssiniya ey’okuna (S.4) eby’omwaka 2020 ng’ekizibu kyavudde ku kukwata bintu bukusu nebatafaayo kubitegeera. Abayizi ab’obulenzi bakoze bulungi okusinga ku bawala.

Mu 2020, abayizi 333,396 bebatuula ebigezo nga abalenzi bali 166,744 ate abawala 166,652 era abayizi abasobodde okuyita bali 311,233.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/550104383099535