Aba famire z’abantu abakwattibwa ku by’okulumbagana Minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala ne batta muwala we Nantongo Brendah ssaako ne Ddereeva we Haruna Kayondo, bali mu kutya mu mbeera y’abantu baabwe.
Gen. Katumba yalumbibwa nga 1, Ogwomukaaga, 2021 Kisaasi, Nakawa mu Kampala era abantu munaana (8) bebali ku Limanda mu kkomera e Luzira ne Kitalya ku misango gy’obutujju, Obutemu ssaako n’okwagala okutta abantu.
Enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Nakawa, Romans Ponsiano Odwori, ayongezaayo omusango, okutuusa nga 17, omwezi guno Ogwomunaana, 2021, nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Babrah Ochom, okutegeeza nti bakyanoonyereza nga betaaga okubongera obudde.

Ku basibe 8, 7 bali ku limanda mu kkomera e Luzira omuli Hussein Sserubula, Yusuf Siraji Nyanzi, Muhammad Kagugube amanyikiddwa nga Musiramu, Kamada Walusimbi amanyikiddwa nga Mudinka, Siriman Ayuub Kisambira nga yeeyita Mukwasi Koja.
Abalala kuliko Abdulaziz Ramathan Dunku ne Habib Ramanthan ate Huzaifa Wampa ali ku limanda mu kkomera e Kitalya era ye mu kkooti, talabiseeko olwa tekinologye wa ‘zoom’ okuva e Kitalya obutakola.
Mu kkooti, abavunaanibwa bakiikiriddwa bannamateeka basatu (3) okuli Geoffrey Turyamusiima, Hamza Ssekidde ssaako ne Asuman Basalirwa.
Wabula famire z’abakwate, bagamba nti abantu baabwe, okusindikibwa ku limanda baali bakubiddwa, banyiga biwundu, batonnya musaayi kyokka balemeseddwa okutegeera embeera gye balimu.
Aba famire, bagamba nti okweyambisa enkola ya ‘zoom’, kibalemeseza okulaba ku bantu baabwe era basigadde bali maziga.
Ate Poliisi erabudde abantu abegumbulidde okugyema ne batambula mu ssaawa za Kafyu okusukka ssaawa 1 ey’akawungeezi.
Sabiiti ewedde, mu kwogera kw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga z’okulwanyisa Covid-19, Kafyu yasigaddewo ku ssaawa 1 nga kyakoleddwa okutangira abantu okutambula ekiro okungaana, ekiyinza okutambuza Covid-19.
Wabula Poliisi egamba nti, abantu beyongedde okuzimuula essaawa za Kafyu ne batambula okusukka essaawa 1 ssaako ne bodaboda okuzigala nga zitambuza abantu okusukka essaawa 12 ezabaweebwa.
Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti ebikwekweeto, ku bazimuula essaawa za kafyu kutandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/167718671996545