Abamu ku bazadde bakiikidde ensingo ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga y’okulemesa abayizi okudda ku massomero.

Museveni bwe yabadde ayogerako eri eggwanga mu kiro ekikeseza olwaleero ku Lwokuna, yakkiriza abayizi ku matendekero aga waggulu, okuddayo okuva nga 1, Novermber, 2021 kyokka abayizi bonna abali secondary, Primary ssaako n’ebibiina ebyawansi, baakudda ku massomero mu Janwali 2022.

Museveni agamba nti olw’okutangira abayizi okutambuza obulwadde (Covid-19) okuva ku massomero okudda mu bazadde, y’emu ku nsonga lwaki, abayizi balina okulinda abasomesa ogemebwa.

Pulezidenti Museveni agamba nti oluvannyuma lwe ggwanga okuyita mu muyaga gwa Covid-19 ogw’okubiri kati basazeewo amaanyi basooke kugassa mu kugema bantu era bakyanoonya eddagala erigema ekirwadde kino era basuubira nti Decemba 2021 wanatuukira bajja kuba bafunye  ddoozi obukadde 12 okuli erya Modena, Astra Zenac wamu ne Pfizer.

Yoweri Kaguta Museveni

Mungeri y’emu agamba nti abasawo balina okwebazibwa kuba balwanye olutalo luno ku lwaffe, bawaayo obulamu bwabwe era mu mawanga agamu abasawo bafudde era newano waliwo betufiiriddwa olw’ensonga nti bebali mu lutalo luno.

Alabudde abakulembeze ku disitulikiti okuli RDC, abakulira eby’obulamu ku disitulikiti (DHO) ssaako n’abakulira eby’emirimu mu disitulikiti (CAO) nti bagenda kufiirwa emirimu singa eddagala erisindikibwa mu bitundu byabwe okugema abantu limala neriyitako nga tebalikozesezza.

Agamba nti gyebuvuddeko, abasomesa bakweka abaana abalina ekirwadde ki Covid-19 nga tebaagala masomero gabwe kuggalwa. Museveni agamba nti bagenda kukozesa amateeka agaliwo okubonereza omuntu yenna anakweka abaana abalwadde mu masomero.

Awadde bannadiini essanyu era agamba nti Amasinzizo kati gasobola okuggulwawo nga bagoberera ebiragiro byonna eby’okulwanyisa Covid-19 omuli abantu obutasukka 200 era balina okuba nga beewadde mmita 2 ku buli luuyi mu bifo ebigazi obulungi ate bonna balina okwambala masiki.

Ate ku mikolo emirala, Museveni agamba nti embaga, okuziika, omuwendo gw’abantu gusobola okweyongerako okutuuka ku bantu 200 naye nga bagoberedde bulungi ebiragiro ebitangira Covid-19 okuva ku bantu 20.

Ate Casino, ebifo bya zaala ne ggiimu, Museveni agamba nti bisobola okukola emisana obutasukka ssaawa 12 ez’akawungeezi . Abakulembeze mu gavumenti ez’ebitundu ne Kampala Capital City Authority (KCCA) nga bakolera wamu n’ekitongole kya National Gaming and Lottery Board balina okubirambula okukakasa nti ebiragiro bya Covid-19 biteekeddwa mu nkola nga tebanaddamu kukola.

Ate ku nsonga y’ebivvulu, Disco n’abayimbi ne Biici, Pulezidenti Museveni agamba nti bibeeramu abantu bangi era kibeera kizibu okubafuga. Alabudde nti nga tetunaba kugema bantu bawera, bano bakusigala nga baggale okutuuka nga tugemye obukadde 4.8 obw’abantu mu ggwanga.

Ate ku nsonga z’ebbaala, Muzeeyi Museveni agamba nti ababeerayo balemererwa okwefuga n’okugoberera ebiragiro ebitangira Covid-19.  Agamba ebbaala zirina okuggulawo nga bamaze okugema abantu obukadde 4.8 obw’abantu.

Wabula abazadde, bagamba nti eky’abaana okubakuumira awaka, bangi bakweyongera okufuna embutto, essuubi ly’okudda ku massomero okubagwamu ekyongera okutaataganya emisomo gyabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/403436187952212