Abasawo mu disitulikiti y’e Luweero balabudde abazadde okulambika abaana baabwe akabi akali mu kwegadaanga, okusinga okulinda abaana abawala abato okufuna embutto.

Okusinzira kw’alipoota ya disitulikiti ey’omwaka 2020 – 2021, abaana abawala abasukka mitwalo 8, begumbulidde okweyambisa enkola ey’ekizaala ggumba, okwetangira okufuna embutto.

Alipoota eraga nti buli mwezi abaana abali mu 7,000 wakati w’emyaka 10 – 19, baddukira mu malwaliro, okufuna ebiyinza okubatangira okufuna embutto wakati w’emyezi 3 n’emyaka 5.

Dr. Innocent Nkonwa, nga yakulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Luweero, agamba nti ekikolebwa abaana ku myaka emito okwetanira enkola ezibatangira okufuna embutto, kabonero akalaga nti okwegatta ku baana abato kweyongedde mu kitundu kyabwe mu myaka emito.

Mungeri y’emu agamba nti wadde bangi bajjumbidde okwetangira, abaana 16,163 bafunye embutto, wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Ate Florence Kyeswa, omusomesa ku nkola ey’ekizaala ggumba mu disitulikiti y’e Luweero, agamba nti buli wiiki, bafuna abaana abasukka 50, okuweebwa ebiyinza okubatangira okufuna embutto.

Agamba nti abalenzi okulemerako nga betaaga omukwano ssaako n’abasajja abakulu, y’emu ku nsonga lwaki abaana abawala, bajjumbidde okuddukira malwaliro, okunoonya ebiyinza okubataasa okufuna embutto.

Mungeri y’emu awanjagidde abazadde, okunoonyereza okutegeera ensonga eziyinza okubasindikiriza (abaana) okwegatta ku myaka emito.

Eddoboozi lya Kyeswa

Poliisi ekutte abantu musanvu (7) ku misango gy’okubba abantu biriyoni ezisukka mu 5 nga bayita ku mitimbagano ku nkola eyakazibwako eya online banking system.

Abakwate okuli Fred Sitakyange, Ephraim Bagambe, Allan Juuko, Bairon Ndyamuhaki, Peter Katumba, Erasmus Mutambi ne Ronald Bashijja, bagiddwa ku Mutaasa-Kafeero arcade, E-Tower building ne Cooper-Complex mu Kampala.

Kigambibwa baludde nga beyambisa emitimbagano okuba ssente okuva kwakawunta z’abantu abenjawulo mu bbanka ez’enjawulo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi enoonyereza ku misango mu ggwanga Charles Twine, wadde 7 bakwattiddwa, waliwo abaliira ku nsiko mu kiseera kino.

Mungeri y’emu agambye nti wadde bafunye abantu abenjawulo ababiddwako ssente zaabwe, waliwo ne bbanka eziddukidde ku Poliisi okuyambibwa ku babbi era okunoonyereza kutandiikiddewo.

Twine agamba nti balina okunoonyereza okuzuula obunafu webuli lwaki ababbi beyongedde okuba abantu ku mitimbagano.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610