Poliisi e Luweero ekutte omusajja ku by’okusobya ku mwana omuto, bwe yamulimbyelimbye nti essaawa yonna agenda kumuwasa.

Yusuf Nkwanga yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana omuwala ali mu gy’obukulu 12 bwe yamulimbyelimbye, namutwala mu nsiko gy’abadde ayokera amanda, namusobyako.

Omwana wakati mu kulukusa amaziga agamba nti Nkwanga yamutegezezza nti nnyina, yamukiriza amutwale era wakati nga bali mu kibira, yamusobezaako rawundi eziwera.

Maama w’omwana agamba nti muwala we yamuloopedde nti Nkwanga amusobezaako wakati mu kibira.

Maama agamba nti alipoota y’abasawo eraga nti omwana yakoseddwa nnyo ebitundu by’ekyama era mu kiseera kino, atandiise okuvunda.

Isah Ssemwogerere, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah agambye nti Nkwanga, wakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Mungeri y’emu agambye nti okuva omwezi oguwedde Ogwokutaano, bafunye emisango 17 egy’abaana abato abasobezeddwako mu disitulikiti y’e Luweero, Nakaseke ne Nakasongola.