Poliisi mu ggwanga erya Zimbabwe ekutte Taata ku misango gy’okusobya ku mwana we n’okumuzaalamu omwana.

Taata akwattiddwa ali mu gy’obukulu 40, ekirese abatuuze ku kyalo Bembezi nga basobeddwa.

Kigambibwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, omwana ali mu gy’obukulu 17 yageenze mu ddwaaliro okuzaala.

Ku ssaawa nga 7 ez’ekiro, omwana yazadde omwana omulenzi, abasawo kwe kumusaba amannya ga taata w’omwana, okujjuza ebiwandiiko ebimu.

Wabula omwana wakati mu kulukusa amaziga, yagambye nti omwana wa kitaawe nga yamusobyako wakati mu kulwanyisa Covid-19 nga bali ku muggalo era yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.

Omwana agamba nti mu kiseera ekyo, nnyina yali akyali ku mulimu era kitaawe okumusobyako omulundi ogwasooka, yamusanga mu kisenge bwe yali yakava mu kinabiro okunaaba.

Omwana era agamba nti kitaawe, abadde amukozesa ebbanga lyonna mu kiseera ng’ali lubuto n’okusingira ddala emisana nga nnyina ali ku mulimu.

Wabula ku Poliisi, taata yegaanye emisango gyonna okudda ku mwana we okumusobyako era agambye asabye Poliisi okunoonyereza okuzuula ani yasobya ku mwana we, ye lwaki omwana amuwayiriza.

Ate abatuuze basigadde basobeddwa nga bagamba nti singa kizuulwa nti ddala omusajja yasobya ku mwana we, basabye ekitongole ekiramuzi okumusiba amayisa.

Kinnajjukirwa nti omwezi oguwedde September, 2021, mu ggwanga erya Nigeria, waliwo taata eyakwata omwana we omuwala ali mu gy’obukulu 15 ng’ali mu kaboozi n’omulenzi mu galagi.
Taata yakwata omwana namutwala mu nnyumba era yamukuba kibooko okumutangira okuddamu okwenyigira mu bya balenzi wadde omuvubuka yadduka.

Wano mu Uganda, Gavumenti esobeddwa olw’omuwendo gw’abaana abasobezebwako ogweyongedde okulinya okuva mu bantu abalina okubakuuma ssaako n’ okubatekateeka.
Okusinzira ku Minisita w’abaana n’abavubuka Sarah Mateke, alipoota yaabwe eraga nti abaana abasukka 14,000 basobezeddwako wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Alipoota eraga nti abaana 120 basobezeddwako abazadde ssaako n’aboluganda nga n’abasomesa, mulimu abeyongedde okusiwuuka empisa, era abaana abasukka 50, basobezeddwako abasomesa baabwe nga n’abaana abasukka mu 300, babasiiga siriimu oluvanyuma lw’okusobezebwako.
Minisita Mateke ng’asinzira ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, awanjagidde bantu bonna omuli abazadde, ebitongole ebikuuma ddembe ssaako n’abakulembeze, okuvaayo okulwanyisa ebikolwa ebyo, okusobola okutaasa abaana b’eggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uMYHv1u6gpU&t=136s