Poliisi eyungudde basajja baayo okunyweza ebyokwerinda, okutangira omuntu yenna ayinza okutabangula ebyokwerinda ku kkooti ya LDC e Makerere, nga Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) yeyanjula mu ngeri y’okwewozaako.

Kinnajjukirwa nti munnamateeka Male Mabirizi, yaddukira mu kkooti ng’awakanya obuyigirize bwa Bobi Wine ssaako n’engeri gye yayingira ku Yunivasite y’e Makerere okusoma mu nsoma ey’abakulu.

Bobi Wine yatikkirwa ku yunivaasite e Makerere emyaka egisukka 20 Diploma mu kuyimba, okuzina ne katemba ky’oyinza okuyita (Music, Dance and Drama-MDD) wabula Mabirizi yamutwala mu kkooti okwewozaako.

Munnamateeka Mabirizi agamba nti tekisoboka kuba nga Bobi  yaweebwa  ekifo asome dipulooma ya MDD nga 21, October, 2000  ku nteekateeka y’abakulu kyokka nga yalina emyaka 20 gyokka.

Male Mabirizi

Mu kkooti, Bobi talabiseeko era okusinzira ku munnamateeka we Godfrey Turyamusiima omuntu we, tewali yamutegeeza nti mu kkooti alina omusango.

Mu maaso g’omulamuzi Augustine Alule, Turyamusiima agambye nti ensonga bazitegeddeko enkya ya leero ku mikutu migatta bantu kwe kujja mu kkooti, okutegeera emisango egivunaanibwa omuntu we.

Mungeri y’emu, Male Mabirizi agiddwa musango era gutwaliddwa offiisi y’omuwaabi wa Gavumenti.

Omusango, gwakuddamu nga 4, omwezi ogujja ogwa November, 2021 Wabula Mabirizi agamba nti ku mulundi guno, Bobi Wine talina gy’agenda kuddukira.

Agamba nti Yunivasite y’e Makerere yamuwa buli ekyetaagisa okuwangula omusango era kkooti yesigadde okulamula.

Eddoboozi lya Mabirizi

Mabirizi agamba nti alina obujjulizi okuva eri Alfred Namoah Masikye akulira eby’okusoma ku Yunivaasite e Makerere.

Masikye alaga nti mu gye 2000, omuntu yenna okuweebwa enteekateeka y’abakulu okusoma, alina okuba waggulu w’emyaka 25 oba ng’omuntu yenna yasoma kyokka nga yali awumudde emisomo okumala ebbanga lya myaka 5, ekiraga nti Bobi Wine yali tasobola kuweebwa mukisa gwonna.

Mabirizi alaga Kyagulanyi yazaalibwa nga February 12th 1980 era yasomera ku Kololo Senior Secondary School and Kitante Hill School, ekiraga nti yaweebwa eby’okusoma e Makerere mu nsoma y’abakulu ng’ali mu myaka 20.

Mabirizi agamba nti Bobi Wine alina okwewozaako kuba singa alemwa, ayolekedde okusibwa emyaka egisukka 2.

Wine musajja mufumbo era akyali ne kabiite we Barbie Kyagulanyi Itungo okuva mu 2011. Barbie yazaalibwa September 7, 1982, ng’alina emyaka 39.

Mu kulonda okuwedde, Bobi yakulemberamu ekibiina ki NUP okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino era yamalira mu kyakubiri. Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni.

Wine y’omu ku basajja abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba ne Bebe Cool, Jose Chameleone, Eddy Kenzo n’abalala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/533493054639390