Poliisi etandiise okunoonyereza ku kintu ekiteberezebwa okubeera bbomu kibwatuse n’ekitta omuntu omu ssaako n’okulumya abalala ku luguudo Ludigido, Komamboga ku kyalo Kwata mu Kampala.

Omu ku batuuze Noah Mukasa Sserumaga, agamba nti ku ssaawa nga 3 ez’ekiro ekikeseza leero, ekintu kibwatuse omulundi gumu ku kifo abantu mwebaliira emmere ekya Digida eating point e Kawempe era amangu ddala abatuuze batandikiddewo okukaaba n’okusaba obuyambi.

Sserumaga agamba nti tewali amanyi oba ebadde bbomu wabula omu ku bakozi omuwala Emily afiiriddewo ate musanvu (7) batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti abafunye ebisago bali mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Agamba nti ekifo kizingiddwako abebyokwerinda omuli abakugu mu kwekebejja bbomu okuzuula ekituufu ekivuddeko omuntu okuttibwa n’okulumya abalala era asabye bannansi okusigala nga bakakamu.

Pulezidenti Museveni ayogedde!

Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku bulumbaganyi obwakolwa e Kawempe.

Museveni agamba nti afunye okutegeezebwa nti abantu bazze nga bali basatu (3) ne baleka ekitereke mu kaveera oluvanyuma ne kibwatuka ne kitta omuntu omu (1) ssaako n’okulumya abantu bataano (5).

Yoweri Kaguta Museveni

Museveni agamba nti ekikoleddwa, kikolwa kya butujju kyokka asuubiza nti abakikoze bonna bagenda kukwattibwa.

Agamba nti abakugu basindikiddwa okunoonyereza n’okuwa eggwanga amawulire agavudde mu kunoonyereza kwabwe ssaako n’okuwa abantu obukodyo engeri y’okwekuuma ebikolwa ebiyinza okuba eby’obutujju.

Museveni era agumizza bannayuganda obutatya kuba Gavumenti ye egenda kulwanyisa ebikolwa byonna ebimenya amateeka nga bwezze erwanyisa embizzi ezitta abantu.

Ku mukutu ogwa Twitter, Museveni agambye nti, “I have been briefed on the bomb incident in Kwata zone, Komamboga. The Information I have is that 3 people came and left a package in kaveera which later on exploded, killing 1 person and injuring 5 others.  It seems to be a terrorist act but we shall get the perpetrators. The Police Specialists are on the ground investigating the whole incident. They will give us more information later. They will also give guidelines on vigilance by the Public dealing with these possible terrorists. The public should not fear, we shall defeat this criminality like we have defeated all the other criminality committed by the pigs who don’t respect life”.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jJdwzbri8B8