Palamenti ekutte omuliro akawungeezi ka leero, Minisita w’obutebenkevu Jim Muhwezi bw’abadde yemulugunya ku Mubaka wa Monicipaali y’e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, okusiiga erinnya lye enziro ate ng’ alizimbye okumala emyaka egiwera.
Minisita Muhwezi agamba nti Ssemujju yamufuula luyimba nga n’emboozi ezitasaana, ayingizaamu erinnya lye, era ayinza okuba alina amusasula okusiiga erinnya lye enziro mu ggwanga.
Minisita Muhwezi okuva mu mbeera, kidiridde Ssemujju okwemulugunya nti ekya Kkooti okugaana okuyimbula ababaka okuli Allan Ssewanyana owe Makindye West n’owe Kawempe North Muhammad Sseggirinya kiva ku kuba nti ekitongole ekiramuzi kitya okunyiza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Pulezidenti Museveni agamba nti balina okukyusa amateeka okugyawo okweyimirirwa ku bantu abakwattiddwa ku misango gya nnagomola omuli obutemu, obutujju omuli n’okubba ku byalo ebintu omuli ebisolo kuba okuyimbulwa, y’emu ku nsonga lwaki okutwalira amateeka mu ngalo kweyongedde.

Mu Palamenti, Ssemujju era agambye nti buli muntu yenna basobola okumukwata ne bamutwala mu kkomera era asobodde okuwa eky’okulabirako nti yaliko mu kkomera ne Minisita Muhwezi kyokka bakkirizibwa okweyimirirwa.
Ebigambo bya Ssemujju, y’emu ku nsonga lwaki Minisita Muhwezi avudde mu mbeera nti Ssemujju asukkiridde okweyambisa ebigambo okusiiga erinnya lye enziro.
Wadde Minisita Muhwezi abadde avudde mu mbeera, Ssemujju ayongedde okuleeta bwiino nti wadde baali bayimbuddwa, Minisita Muhwezi yasobola okuddayo mu kkomera e Luzira, okukimayo akafaliso aka yinki bbiri keyali asulako, ekyongedde okusajjula embeera.
Mu Palamenti nga tuvuddeyo, Poliisi y’e Kakumiro ekutte Taata ku misango gy’okutta omwana we oluvanyuma lw’okumusobyako.
Taata Tom Sebugwawo myaka 30 nga mutuuze ku kyalo Kitande mu ggoombolola y’e Kyabasaija yakwattiddwa ku by’okutta omwana we, ali mu gy’obukulu 13 amangu ddala ng’amaze okumukozesa.
Sebugwawo n’omukyala Harriet Nakyanzi baali bayawukana emyaka egisukka 3 era ku Ssande ekiro ku ssaawa nga 3, taata yaddukidde muwala we era okumutwala, yamututte lwa mpaka.
Wabula abatuuze baguddemu ekiyongobero webagudde ku mulambo gw’omwana enkya ya leero mu kasiko nga yatugiddwa oluvanyuma lw’okusobezebwako era amangu ddala Poliisi eyitiddwa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo Julius Hakiza, taata wadde akwattiddwa, okunoonyereza kukyagenda mu maaso, okuzuula ekituufu lwaki omwana yattiddwa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/341314184419047
Bya Zainab Ali