Poliisi y’e Kakira eyongedde okunoonyereza ku Mutume muyite ‘Prophet’ Joseph Sserubiri ne mukyala we Felista Namaganda abaakwattiddwa ku misango gy’okusaddaaka omwana myaka 4.

Omwana Nakisuyi Trinity Nabirye Zabella myaka 4 abadde muwala wa John Mulodi, omutuuze we Kakira market zone mu Tawuni Kanso y’e Kakira mu disitulikiti y’e Jinja.

Zabella yabula nga 30, omwezi oguwedde ogwa November, 2021, okuva awaka era okuva olwo, famire n’abatuuze, baludde nga banoonya omwana.

Wabula Poliisi oluvanyuma lw’okunoonyereza, kyazuuliddwa Prophet Sserubiri n’omukyala Namaganda baasaddaka omwana, ebitundu ne biziikibwa ku byalo eby’enjawulo.

James Mubi

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja, agamba nti omutwe gwazuuliddwa ku nnyanja Wanyange ate ekiwuduwudu mu ssamba ly’ebikajjo erya Kinyoro sugarcane plantation mu Tawuni Kanso y’e Kakira.

Mubi ku bitundu by’omubiri

Mu kunoonyereza, Poliisi eyongedde okuzuula ebizibiti, ebigenda okuyambako mu kutambuza omusango mu kkooti.

Ebizuuliddwa mwe muli ne mpale ya Joseph Sserubiri, ezuuliddwa ng’eriko omusaayi ssaako ne mu Galagi ku maka ga Mulodi, taata w’omwana eyasaddakiddwa ebadde ekola nga ekkanisa, okusangibwamu, amatondo g’omusaayi.

Mubi ku bizibiti

Poliisi eyongedde okulabula Balandiloodi, okwekeneenya abantu abaggya okupangisa amayumba gaabwe.

James Mubi, agamba nti Mulodi yapangisa Prophet Sserubiri galagi ku makaage nga yefudde omuntu omulungi, kyokka oluvanyuma yasaddaase muwala we.

Agamba nti abantu okwetaaga ssente ne balemwa okwekeneenya abantu abali ku nju zaabwe, kivuddeko bangi okwenyigira mu kumenya amateeka.

Mubi Bapangisa

Prophet Sserubiri n’omukyala Namaganda mu kugibwako sitetimenti ku Poliisi, bagambye nti okunoonya obuganzi n’okwagala ekkanisa okuba eyamaanyi mu Tawuni Kanso y’e Kakira, y’emu ku nsonga lwaki benyigidde mu kusaddaka omwana.

Mungeri y’emu Poliisi, ezudde nti n’ebiwandiiko Prophet Sserubiri bye yawa abakulembeze ku kyalo mu ngeri y’okweyanjula, byali bijingirire era emisango gyonna alina okwewozaako.

Mubi Bakwate

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zFZxI1Ea28g