Omuyimbi Rema Namakula ayongedde okulaga nti ddala ategeera kye bayita omukwano.
Mu Uganda, Rema y’omu ku bayimbi abayimba ennyimba z’omukwano era buli lunnaku ayongera okulaga nti ebintu by’omukwano abitegeera bulungi nnyo.
Rema alina akayimba akapya, “AKAFEE CHE” era mu kiseera kino ze zimu ku nnyimba ezikutte akati mu Uganda n’okukola obulungi ku mukutu gwa U-tube.
Ng’omuntu yenna ali mu laavu, Rema oluvanyuma lw’okuzaalira bba Dr. Hamzah Ssebunya omwana, omukwano gweyongedde wakati waabwe.

Okusinzira ku vidiyo ku mukutu ogwa Instagram, Rema yabadde mu mmotoka ne bba Dr. Hamzah wakati mu kuwuliriza akayimba ‘AKAFEE CHE”.
Wadde Dr. Hazmah yabadde ku ssimu, Rema yasobodde okusembeza omukono gwe era amangu ddala, Dr Hamzah yakutte ku mukono mpolampola mu ngeri y’okulaga omukwano.
Ng’omusajja omulala yenna ategeera kye bayita laavu, yanywegedde omukono gwa Rema.
Ebimu ku bintu ebikuuma obufumbo, okunyweza enkolagana ng’omusajja ategeera bulungi mukyala we n’omukyala okuzuula ebiwa omusajja eddembe.
Vidiyo!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=i962Lpk2zaI