Munnansi w’eggwanga erya Nigeria, Simon Odo abadde amanyikiddwa nga ‘King of Satan’ aziikiddwa mu mmotoka ye ku kyalo Aji mu ssaza lye Enugu ku myaka 74.

Okuziikibwa, emmotoka ebadde etokota, nga muteekeddwamu oluyimba lwabadde asinga okwagala.

Emmotoka ekoze nga sanduuko era abamu ku baana be, bagamba nti wadde kitaawe avudde ku nsi, agenze mu nsi endala era y’emu ku nsonga lwaki ateekeddwa mu mmotoka ye, okumwanguyiza mu byentambula ng’atuuse gy’agenda.

Omugenzi Simon Odo

Odo, yafudde ku makya g’olunnaku Olwokubiri nga 14, December, 2021, era mu Nigeria yabadde akulemberwamu enzikiriza y’okusinza sitaani gy’agamba nti yagisikira okuva ku kitaawe.

Odo abadde alina abakyala 57 n’abaana abatamanyiddwa muwendo.

Odo yaziikiddwa mu mmotoka

Bwe yali ayogerako ne bannamawulire b’omukutu gwa BBC, Odo yategeeza nti wadde ali wansi wa sitaani, abadde tawagira kusadaaka muntu yenna.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya Nigeria, erangiridde okwongeza abasirikale omusaala ebitundu 20 ku 100.

Pulezidenti Muhammadu Buhari yasuubiza okwongera abasirikale omusaala ng’emu ku ngeri y’okulongosa mu byenfuna n’okubazaamu amaanyi mu ntambuza y’emirimu gyabwe.

Pulezidenti Muhammadu Buhari

Minisita w’ensonga za Poliisi Muhammad Maigari Dingyadi, agamba nti kabinenti yakiriziganyizza okwongera abasirikale omusaala, kiyambeko abasirikale okwewala okulya enguzi.

Agamba nti abasirikale okwewala okulya enguzi olw’okubongeza omusaala, kigenda kuyambako okutumbula enkolagana wakati wa Poliisi n’abantu ba buligyo.

Omusaala gugenda kwongezebwa okuva omwezi ogujja ogwa January, 2022.

Mungeri y’emu Kabinenti eggyeewo omusolo ku musaala gwa basirikale abasookerwako.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IcbAeD73Tsw