Abakungu mu ggwanga erya Nigeria bagamba nti abantu munaana (8) abattiddwa oluvanyuma lw’abatujju okuteekera ekkanisa omuliro mu ssaza lye Kaduna.

Kigambibwa abatujju nga bakutte emmundu, oluvanyuma lw’okuteekera ekkanisa ya Assemblies of God omuliro, waliwo amayumba agali okumpi ne kkanisa, ge bayokezza.

Okulumba amasinzizo kweyongedde mu ggwanga erya Nigeria era abantu bangi battiddwa.

Omwezi oguwedde ogwa Ogwokuna, 2021, abatujju baalumba ekkanisa mu ssaza lye Kaduna, era omuntu omu yattibwa, bangi bawambibwa nga basangibwa mu kkanisa nga bali mu kusinza.

Omwezi guno Ogwokutaano, abatujju bakola obulumbaganyi ku muzikiti mu ssaza lye Katsina era abantu 45 bawambibwa kyokka oluvanyuma ebitongole ebikuuma ddembe byasobola okubanunula.

Kigambibwa abatujju b’akabinja ka Boko Haram balina omukono ku ky’okulumba amasinzizo okweyongedde.

Wabula abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe bagamba nti ebyokwerinda byongedde okunywezebwa okutangira embeera y’emu okweyongera mu ggwanga.

Mungeri y’emu basabye abannansi okuyamba okuwa ebitongole ebikuuma ddembe amawulire singa bafuna okwekengera kwonna.

Ate Abadde akulira amaggye mu ggwanga erya Nigeria Lt-Gen Ibrahim Attahiru afiiridde mu kabenje k’ennyonyi mu ssaza lye Kaduna.

Akabenje kavudde ku mbeera y’obudde ebadde embi era ennyonyi ebadde egezaako okukka wansi.

Okusinzira ku maggye, Lt-Gen Attahiru afudde n’abasirikale abalala 10 omuli n’abakozi b’ennyonyi.

Pulezidenti w’eggwanga Muhammadu Buhari asaasidde nnyo aba famire ssaako n’eggwanga.

Gen Attahiru afiiridde ku myaka 54 era wafiiridde abadde alina entekateeka ez’enjawulo okwongera okunyweza ebyokwerinda mu ggwanga, okulongoosa emisaala gy’abasirikale ssaako n’okulongoosa embeera mwe bakolera emirimu.

Amaggye ga Air Force gagamba nti akabenje kabaddewo ng’ennyonyi egezaako okukka wansi ku kisaawe kya Kaduna International Airport.

Ku Twitter, Pulezidenti Buhari agamba nti akabenje kalese eddibu ddene mu kitongole ekikuuma ddembe eky’amaggye kuba kabaddewo mu kiseera nga balina entekateeka okwongera okunyweza ebyokwerinda.

Akabenje kanom kaguddewo ku lunnaku Olwokutaano nga 21, May, 2021 nga wakayita emyezi 3 ng’ennyonyi y’amaggye egudde mu kibuga Abuja omwafiira abantu musanvu (7) abagirimu.

Amaggye era gawakanyizza ebyogerwa nti ennyonyi omwafiiridde Gen Attahiru yakubiddwa abatujju b’akabinja ka Boko Haram.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/234316928453283