Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni asiibudde Kabinenti gy’abadde akola nayo emirimu mu kisanja eky’okutaano 2016 – 2021.
Mu mitingi ebadde mu State House Entebbe, yetabiddwamu Baminisita bonna 78 era Yoweri Museveni asobodde okugyeyambisa, okubasiibula kuba gwe mulundi gwe ogusembyeyo okukubiriza mitingi mu kisanja eky’okutaano.
Museveni alina okuddamu okulonda kabinenti endala oluvanyuma lw’okulayira ng’omukulembeze w’eggwanga lino ekisanja ekyomukaaga nga 12, May, 2021 mu kisaawe e Kololo.
Okusinzira ku nsonda ezesigika, oluvanyuma lwa mitingi, Pulezidenti Museveni asobodde okugabula Baminisita bonna ekijjulo ekisembayo nga bannaminisita mu kisanja kino.

Kinajjukirwa nti Pulezidenti Museveni yakoma okukola enkyukakyuka mu Kabinenti mu 2019.
Mu nkyukakyuka ezo, yalonda Hamson Abua, Judith Nabakooba, Raphael Magyezi, Beatrice Anywar nga ffeesi empya mu Kabinenti.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya Nigeria etabukidde Father eyasabye omukulembeze w’eggwanga lyabwe Muhammadu Buhari okulekulira mu bwangu.

Father Ejike Mbaka yagambye nti Buhari alemeddwa okulembera obulungi eggwanga ekivuddeko ebyokwerinda okuyuuga.

Buhari ne Father Mbaka mu 2015

Wabula omuwandiisi w’ekibiina ekiri mu buyinza ekya All Progressives Congress (APC) Yekini Nabena agambye nti Father Mbaka ateekeddwa okudda eri Omutonzi okwewala okwenyigira mu byobufuzi.

Agamba nti Father Mbaka ateekeddwa, kusosowaza nsonga za ddiini okusinga okuzannya ebyobufuzi.

Ate omwogezi wa Pulezidenti Garba Shehu agambye nti Gavumenti okugaana okuwa Father Mbaka Kotulakita mu Gavumenti, y’emu ku nsonga lwaki yefuulidde Pulezidenti Buhari abadde musajja we ssaako n’okulaga nti alemereddwa, alina kulekulira.

Father Mbaka mu kwanukula abasekeredde era agambye nti buli kyayogera kituufu kyokka abakulu mu Gavumenti baddembe okuddukira mu Rome okumuloopa ewa Paapa bwe kiba ng’akyayogera kya bulimba.

Buhari myaka 78 akulembedde Nigeria okuva mu 2015 wabula bangi ku bannansi bagamba nti alemeddwa okulwanyisa abatujju ba Boko Haram, ekivuddeko bangi ku baana baabwe okuwambibwa n’okuttibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/197183578741987