Poliisi y’e Luweero ekutte abantu bana (4) ku misango gy’okwenyigira mu kubba n’okutta aba bodaboda.

Abakwate kuliko Godfrey Kafuluma, Ibrah Ssesanga, Christopher Ssenyondo ne Sharif Mubiru nga bonna batuuze mu zzooni y’e Nansana East mu Monicipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.

Abakwate, bali ku misango gy’okutta Denis Lukyamuzi mu zzooni y’e Galuwero mu Tawuni kanso y’e Luweero.

Okusinzira ku Isah Ssemogerere, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, abakwate ssaako ne banaabwe abakyalira ku nsiko, ku Mmande ya sabiiti eno, nga 10, Janwali, 2022 ku ssaawa 4 ez’ekiro, bateega Lukyamuzi mu kkubo ku kyalo Kyegombwa.

Lukyamuzi, bamukuba ennyondo ku mutwe ne batwala ssente ne Pikipiki ye UFL 890D.

Poliisi egamba nti wadde Lukyamuzi baddusa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, yafudde ku Lwokubiri, ekyalese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Ssemogerere agamba nti wadde abakwate batuuze b’e Nansana, Poliisi yafunye amawulire nti baludde nga benyigira mu kubba abatuuze mu kitundu kyabwe.

Mu kiseera kino abakwate bali ku kitebe kya Poliisi e Luweero ku misango gy’obutemu.

Wabula Robert Ssekyanzi, ssentebe w’ekibiina ekigata abavuga bodaboda mu Tawuni Kanso y’e Luweero, agamba nti omugenzi yabadde apangisizza Pikipiki ku siteegi ya Mukama Afaayo.

Ssekyanzi agamba nti mu bbanga lya mwezi gumu, bodaboda  5 zibiddwa, kwe kusaba Poliisi okwongera amaanyi ku nsonga y’ebyokwerinda.

Ate Gavumenti etongozza Kampeyini egendereddwamu, abaana bonna okudda ku massomero, wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Kampeyini etuumiddwa ‘Go Back To School’, etongozeddwa Minisita omubeezi obw’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Joyce Kaducu, ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero.

Minisita Kaducu agamba nti mu Kampeyini eno, Gavumenti yegatiddwako ebitongole eby’enjawulo omuli Safe the Children, okujjukiza abazadde bonna okuzza abaana ku massomero n’okulaga ebirungi ebiri mu kusoma.

Olunnaku olwaleero, luyingidde olunnaku Olwokuna ng’abayizi badda ku massomero oluvanyuma lw’amasomero okuggulawo ku Mmande nga 10, Janwali, 2022 era Minisita Kaducu  agamba nti abaana, balina okudda ku massomero.

Minisita agamba nti mu kampeyini bagenda kweyambisa Laadiyo, TV, emikutu migatta bantu, ebizindalo mu ggwanga lyonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rSw80N-wT8Q