Ensonga y’okuzimba amaka oba okugulira famire y’omugenzi Prof. Emmanuel Tumusiime-Mutebile, eyawuddemu Palamenti, enkya ya leero era banyuse nga tebakaanyiza.
Palamenti ekedde kusiima, emirimu egikoleddwa Prof Mutebile, abadde Gavana wa Bbanka ya Uganda enkulu, eyafiiridde mu ggwanga erya Kenya ku myaka 72 ku lunnaku lwa Ssande.
Ekiteeso, ekisiima, emirimu gyakoledde eggwanga lino, kireeteddwa Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja n’ekisembebwa munnakibiina ki NUP era akulira oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga Mathias Nsubuga Nsamba.
Mu Palamenti ebadde akubirizibwa Anita Among, omubaka we Bukooli Central munna NRM era Kaminsona wa Palamenti Solomon Silwany aleese ekiteeso, Gavumenti oba Bbanka enkulu eya Uganda, okuzimbira famire ya Mutebile amaka.
Silwany agamba nti Mutebile abadde musajja mwesigwa, omukozi era Gavana asinze okulwa mu kifo, akoze nnyo mu kutebenkeza ebyenfuna by’eggwanga nga kigwanidde okuzimbira famire amaka mu ngeri y’okumusiima, agalina okulemberwamu Nnamwandu.
Silwany mungeri y’emu agambye nti Mutebile, ebbanga ly’amaze ng’ali mu ssente, alemeseza okubba ssente z’eggwanga ate abadde musajja bwerufu nnyo.
Mutebile abadde abeera mu nnyumba ya Gavumenti e Kololo ng’alina amaka mu disitulikiti y’e Kabale era Silwany agamba nti olw’okuba afudde, famire ye, bayinza okugigoba mu nnyumba ya Gavumenti e Kololo.
Mungeri y’emu ne sipiika Among asobodde okutegeeza Palamenti nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo nga bali mu kungubaga e Kololo, Mutebile gy’abadde asula, Namwandu, yasobodde okubategeeza nti bba tamulekedde maka mwagenda kubeera.
Wabula eky’okuzimbira famire ya Mutebile amaka, kyongedde okutabula Palamenti era abamu bakisimbidde ekkuli okuli omubaka wa Monicipaali y’e Mityana era Kaminsona wa Palamenti Francis Zaake newankubadde waliwo abakiwagidde nga bakulembeddwamu omubaka we Buyaga West Barnabas Tinkasimire.
Ku nsonga eyo, Ssaabaminisita Nabbanja asabye okuweebwa akadde okwebuuza ku nsonga eyo, era amangu ddala wakutegeeza Palamenti ku kiddako.
Prof Emmanuel Mutebile aludde ng’atawanyizibwa ekirwadde kya Sukaali ekyavaako ensiko okulwala era wakuziikibwa akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku kyalo Rugarama mu disitulikiti y’e Kabale, wakati mu kwetangira Covid-19.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=DoDVelz8FTg