Landiloodi ategerekeseeko erya Musa awonye emiggo gy’abatuuze, bw’akwattiddwa lubona ng’ali mu kaboozi ne muk’omupangisa.

Landiloodi Musa ali mu gy’obukulu 45 kyokka akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, omupangisa we Katende yamukutte lubona ng’ali mu kusinda mukwano ne mukyala we ategerekeseeko erya Angle.

Katende agamba nti yavudde awaka okugenda mu kibanda okulaba omupiira wakati wa Arsenal ne Aston Villa kyokka omukyala yabadde alowooza nti agenda kudda kiro nga buligyo.

Oluvanyuma lwa Arsenal okuwangula omupiira ggoolo 1-0, Katende yasazeewo okudda awaka nga zigenda mu ssaawa 12.

Wakati mu kulukusa amaziga, Katende agamba nti yatuuse awaka ng’abaana bali wa neyiba bonna okuli omuto myaka 2 n’omukulu myaka 4.

Agamba yatuukidde mu nnyumba wabula amaaso gatuukidde ku mukyala we ng’ali mu kikolwa ne Landiloodi Musa.

Bwe yatuuse mu kisenge, maama Angle yasabye bba okumusonyiwa kuba abadde takitegeeza kumulumya.

Katende alemeddeko!

Katende yalemeddeko okuyita amawulire, okuswaza  Musa kuba kikolwa kya jjoogo okudda ku muk’omupangisa ate mu nju yaabwe.

Musa yasabye Katende okuteesa ng’abantu abakulu kuba alina amaka n’abakyala babiri (2) nga teyandyagadde bituuke mu makaage.

Yasabye Katende okubaako kyamuwa okusinga ensonga okuzitwala mu mawulire.

Wakati mu kuteesa, Landiloodi Musa yawadde Katende ebbanga lya myaka 4 okusula mu nnyumba nga tawadde wadde 100.

Buli mwezi, Katende abadde asasula ssente 300,000/= wabula mu bbanga lya myaka 4, awonye okusasula ssente 14,400,000/=.

Ssentebe w’ekyalo Kiryowa yayitiddwa okukola ebbaluwa wakati wa Landiloodi Musa n’omupangisa Katende mu maaso g’omukyala maama Angle ssaako ne baneyiba abali mu 10.

Omukyala ayogedde!

Maama Angle agamba nti mu kiseera nga bali ku muggalo mu kiseera ky’okulwanyisa Covid-19, Landiloodi Musa yatandika okumwogereza nga bw’ali omukyala omulungi nnyo.

Maama Angle wakati mu kuswala asabye bba okumusonyiwa kuba Landiloodi okumusendasenda okumala ebbanga eddene y’emu ku nsonga lwaki yatendewaliddwa.

Agamba nti gubadde mulundi gwakubiri okwegata ne Landiloodi ng’omulundi ogwasooka, yamutwala mu loogi mu bitundu bye Kansanga.

Katende yakkiriza okusaba kwa mukyala we maama Angle kwe kulabula Landiloodi obutaddamu wadde kwesembereza mukyala we.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=mVEzTf1Y3Gk