Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akangudde ku ddoboozi ku bantu abali mu kutambuza amawulire ku nfa ya Jacob Oulanyah
Oulanyah abadde sipiika wa Palamenti y’e 11 nga yafiiridde mu ggwanga erya America nga 20, March, 2022.
Okuva ku Ssande, waliwo abantu abali mu kutambuza amawulire n’okusingira ddala ku mukutu ogwa Face Book nti Jacob Oulanyag yafudde butwa.
Abamu ku bagamba nti Oulanyah yafudde butwa kuliko ne Fred Kajjubi Lumbuye ali mu nsi z’ebweru.
Wabula Pulezidenti Museveni agamba nti bakooye abantu abali mu kutambuza amawulire ag’obulimba nga beyambisa emitimbagano.
Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri ababaka ba Palamenti mu kisaawe e Kololo oluvanyuma lw’okulonda Anita Annet Among myaka 48 ku bwa sipiika ne Thomas Bangirana Tayebwa myaka 41 ku ky’okumyuka sipiika, yagambye nti akooye abantu abali mu kweyambisa ekiseera kino okutambuza obulimba.
Museveni agamba nti Oulanyah abadde mulwadde okumala ebbanga ddene nga kyewunyisa abantu okudda mu kutambuza ebigambo nti yafudde butwa.
Amangu ddala, Pulezidenti Museveni yalagidde ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi okunoonya abantu bonna, abagamba nti Oulanyah yafudde butwa.
Agamba nti omuntu singa agamba nti Oulanyah yafudde butwa, Poliisi erina okumunoonya, okuyambako mu kunoonyereza okuzuula ekituufu ekyasse abadde sipiika Oulanyah.
Okusinzira ku minisita w’ebyamawulire Dr. Chris Baryomunsi, Oulanyah yafudde Kkansa. Agamba nti Oulanyah abadde alina Kkansa mu lubuto era amulumidde ebbanga nga kiswaza abantu okudda mu kutambuza amawulire amafu.
Entekateeka z’okuziika Oulanyah!
Oluvanyuma lwa Palamenti okulonda sipiika wa Palamenti n’omumyuka we ku Lwokutaano, essaawa yonna Gavumenti egenda kufulumya entekateeka z’okuziika Oulanyah n’okomyawo omulambo.
Sipiika wa Palamenti omuggya Anita Among agamba nti Oulanyah agenda kuziikibwa mu kitiibwa kya sipiika.
Mu byafaayo bya Uganda, Oulanyah ye sipiika wa Palamenti eyasoose okufiira mu ntebe.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=lsvYh0wLsBw