Mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba (MK) alaze nti amaliridde okukwata obuyinza okulembera eggwanga lino.

Muhoozi myaka 48 mu kiseera kino ye muduumizi w’eggye ly’oku ttaka.

Abamu ku batunuulizi b’ensonga mu ggwanga lino Uganda, bagamba nti Muhoozi okutambula mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo kukabaga ka mazaalibwa, ali mu kampeyini n’okulaba oba ddala alina obwagazi mu bantu.

Wabula Gen Muhoozi asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okulaga nti mwetegefu okukwata obuyinza.

Muhoozi ku Birthday

Muhoozi ku mukutu gwe ogwa Twitter “Muhoozi Kainerugaba”, agambye nti singa ttiimu MK ewangula obuyinza mu ggwanga lino, ate ng’erina okuwangula, agenda kutandikira kuteeka ssente mu by’emizannyo era atendereza kitaawe era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ne Pulezidenti w’eggwanga Paul Kagame nti basajja bakugu nnyo mu kutekateeka, “I consider President @KagutaMuseveni ,and President @PaulKagame the best strategists that ever lived! When Team MK wins power in this country, which we will! Our first act will be to increase the Sports budget!”.

Ebigambo bya Muhoozi

Muhoozi mu ngeri y’emu asabye abantu bonna, abagamba nti alina okwesimbawo ku bwa Pulezidenti mu 2026 okumwanukula ssaako n’abo, abakiwakanya, “All those who want me to stand in 2026 retweet, all those who don’t like“.

Muhoozi okulaga nti ayagala obuyinza, omubaka wa Palamenti Kasambya, David Kabanda agamba nti ye alina okuwagira Muhoozi singa 2026 avaayo okwesimbawo. Kabanda agamba nti tewali kubusabusa kwonna, Muhoozi ye Pulezidenti alina okuddako ku bwa Pulezidenti bwa Uganda, “When i told you Gen Muhoozi Kainerugaba is the next president of Uganda from 2026 most of you dismissed it. I am happy that all of you have believed and accepted. Mobilisation starts now“.

Omubaka Kabanda

Kabanda era agamba nti MK asobola bulungi nnyo okukolagana ne Mao, bannakibiina ki FDC ssaako ne NUP. Mu ngeri y’emu agamba nti Muhoozi alina okulembera ekibiina ki National Progressive Movement NPM, ekibiina nga tekiriiko nziro yonna, “Team MK must drive a new progressive movement free of intrique that has characterised our current party. MK can work with Mao, some disappointed FDC Leaders & even NUP. All these need a new clean political vehicle acceptable to all of us. This is National Progressive Movement NPM“.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=evTLripi3fc