Poliisi ekutte taata ku misango gy’okusobya ku mwana we ku kyalo Okon mu ssaza lye Akwa Ibom mu ggwanga erya Nigeria.

Ku Poliisi, taata ono Udeme Peters akkiriza okusobya ku mwana we, okumala ebbanga eriwera.

Omwana myaka 15 ng’ali mu S2 agamba nti kitaawe abadde yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna nti abadde amusobyako.

Agamba nti kitaawe, abadde amukaka okumukomba ebitundu by’ekyama buli kaseera nga agenda okumusobyako era akikoledde enfunda eziwera.

Omwana abadde abeera ne kitaawe yekka mu kazigo kamu olwa nnyina okunoba era agamba nti kitaawe abadde amusobyako okuva ng’alina emyaka 14.

Udeme okukwatibwa, kidiridde abatuuze okumukwata lubona ng’asobya ku mwana we, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Ku Poliisi, Udeme asabye okusonyiyibwa era afukamidde neyetondera omwana we okumusobyako ku myaka emito.

Ate abatuuze basabye ebitongole ebikuuma ddembe, Udeme okutwalibwa mu kkooti, asibwe kuba kiswaza taata okudda ku mwana we omuto.

Abatuuze bagamba nti Udeme okudda ku mwana we, tagwanidde okusigala ku kyalo wadde okubeera mu bantu.

Ate Ssemaka Waligo Richard, omutuuze mu Kimwanyi zzooni e Nsambya mu divizoni y’e Makindye, asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya, okutuusa nga 17, omwezi guno Ogwokutaano, 2022.

Namwase Easter ng’ali mu maziga

Waligo ali ku misango gy’okwagala okutta mukyala we Namwase Easter, mu Gwokusatu, guno omwaka ogwa 2022, bwe yamuyiira amazzi agookya ag’ebijanjalo okuva ku mugongo, okutuuka wansi ku butuuliro.

Okuva ku Gwokusatu, Waligo abadde aliira ku nsiko, okutuusa Poliisi we yamukwatidde mu disitulikiti y’e Ggomba era mu kkooti y’omulamuzi e Makindye, aguddwako emisango gy’okwagala okutta omuntu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Waligo n’omukyala wadde balina abaana 5, buli omu abadde alangira munne obwenzi.

Waligo abadde n’omukyala Namwase emyaka egisukka mu 10 wabula omukyala agamba nti bba yali asukkiridde okutambuza ebigambo nti ye (Namwase) alina abakyala abalala mu bitundu bye Nsambya.

Enanga agamba nti abantu nga Waligo balina okugibwa mu bantu kuba kiswaza omusajja okwagala okutta mukyala we, gwe yakazaalamu abaana abataano (5).

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=fX-yN3gfeTM