Poliisi etuubulidde wetuuse mu kunoonyereza ku babbi abaalumbye Spice Super Market mu disitulikiti y’e Mukono ne bateeka abakozi ku middumu gy’emmundu ne banyaga ebintu eby’enjawulo omuli ne ssente enkalu.
Ababbi, baalumbye nga bakutte emmundu ekika kya AK47 ku ssaawa nga 5:30 ez’ekiro ku Lwokutaano nga 24, June, 2022.
Wabula okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, wakati mu kunoonya ababbi, okunoonyereza kulaga nti ababbi bazze nga bategeera bulungi, entambuza y’emirimu ku Supermarket ssaako n’amakkubo agayinza okubaddusa.
Mungeri y’emu Poliisi ezudde nti asikaali, yabadde talina emmundu mu kiseera abazigu we baalumbidde nga yabadde ayambako Bakasitoma okuteeka ebintu mu mmotoka zaabwe, ekiraga nti ku nsonga y’ebyokwerinda wabaddewo obulajjavu.
Ate omukozi eyakubiddwa essasi eryamulumizza ye Sekandi Irene nga mu kiseera kino yasindikiddwa mu ddwaaliro e Nsambya, okufuna obujanjabi.
Owoyesigyire agamba nti mu kiseera kino, Poliisi eyungudde basajja baayo, okunoonya abazibu abo, bakwatibwe n’okugibwako emmundu.
Owoyesigyire asabye omuntu yenna ayinza okuba n’amawulire, ku bamukwatammundu abakoze obulumbaganyi, okuyambagana okuzuula abantu abo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ElSE4il36H8