Abadde muganzi w’omuwala Caroline Aturinda akyali mu maziga olwa muganzi we okufiira mu kabenje k’eggaali y’omukka nga busasaana ku Ssande nga 10, July, 2022.

Aturinda abadde muyizi w’amateeka ku Makerere Law Development Centre era abadde omu ku bayizi abagenda okutikkirwa nga 29, July, 2022.

Yafiiridde mu kabenje ne mikwano gye okuli Norbert Tizikara myaka 32 okuva mu kitongola kya Poliisi ekikola ku by’okuzimba ne Ann Kabaya nga baabadde mu mmotoka ekika Mercedes Benz namba UBJ 053N e Kinawataka nga bagezaako okusala ekkubo okumpi n’ekitongole kya Gavumenti ekisolooza omusolo ki Uganda Revenue Authority.

Kigambibwa Aturinda yabadde ne mikwano gye mu Kirabu ya Guvnor okulya obulamu ku Lwomukaaga ekiro.

Tizikara yabadde azzaayo Aturinda ne Kabaya e Najjera ne Kira ne bafiira mu kabenje. Tizikara agenda kuziikibwa mu disitulikiti y’e Mitooma.

Wabula Ken Mugisha, omusajja agambibwa nti abadde muganzi wa Aturinda, ali mu maziga mu kiseera kino.

Mugisha ali mu myaka 40 nga mutuuze we Ntinda, musajja mutendeke mu mateeka.

Mugisha bw’abadde awayamu naffe, agambye nti okuva ku Ssande, embeera si nnungi olwa muganzi we, okufiira mu kabenje.

Mugisha wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti mu Gwokutaano yafuna obutakaanya n’omugenzi era abadde akola kyonna ekisoboka, okuddamu okukwatagana.

Ng’omusajja omulala yenna, Mugisha agamba nti omugenzi abadde muwala musunyufu nnyo ng’ategeera kye bayita omukwano.

Abadde muwala mukwatampola, omugezi era Mugisha agamba nti yaluddewo okakasa nti ddala Aturinda afudde.

Oluvanyuma lw’akabenje, omwogezi w’ekitongole kya poliisi y’ebidduka, Faridah Nampiima alabudde baddereeva okuwa ekitiibwa enguudo z’eggaali y’omukka.

Nampiima agamba nti obulagajjavu bwa ddereeva y’emu ku nsonga lwaki Aturinda ne banne bafiiridde mu kabenje.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Typx18xpYEE