Eyaliko omubaka we Kako mu Palamenti y’e 10 Gordon Bafaki, afiiridde mu kabenje k’emmotoka, mu kiro ekikeeseza olwaleero.

Bafaki myaka 48 mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021, yawangulwa Dan Kimosho.

Wabula mu kiro, mu kabenje akabadde e Kiwatule ku Northern Bypass, Bafaki abadde omutuuze we Namugongo mu Divizoni y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso, afiiriddewo era omulambo gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi y’ebiduuka Faridah Nampiima, akabenje kavudde ku mmotoka ya Gordon Bafaki Toyota land cruiser TX namba UBD 965E okuyingirira Tuleela Mercedes Benz namba KBZ 539Z.

Nampiima era agamba nti ddereeva wa Tuleera Kahagi John Kinuthia akwattiddwa era ali mu mikono gyabwe, okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Emmotoka zonna zitwaliddwa ku Poliisi y’e Kiwatule okwekebejjebwa.

Kigambibwa Bafaki abadde ava Kiruhura ku kabaga ka mutabani w’omukulembeze w’eggwanga era omudduumizi w’eggye ery’oku ttaka Lt Gen Muhoozi Kainerugaba era yabadde ku lukiiko olutesiteesi.

Okufa kwa Bafaki kugyeeyo abakulembeze abenjawulo okusaasira aba famire omuli ne sipiika wa Palamenti Anita Among.
Among agamba nti Bakafi ku myaka 48, eggwanga lifiiriddwa nnyo omusajja abadde omugezi, omukozi era asobodde okweyambisa emyaka gye emito, okuwereza eggwanga, “Our sympathies go out to the family of the late Hon Gordon Bafaki ,former MP Kazo County , his friends and the people of Kazo in this painful moment. Such a young and vibrant life brought to a tragic end! We thank him for his services to his Country during his tenure as MP“.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=zS_upBKizZQ